TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2019

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Fut2 703x422

Dr. Diana Atwine, omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu.

OMWEZI gwa March gwa bakyala era obwenkanya olw’obulungi gwe gwali omulamwa gw’ebijaguzo by’olunaku lw’abakyala nga March 8. Wabula ekyebuuzibwa nti obwenkanya mu mirimu bwo weebuli?

Kalondoozi bwe yeebuuzizza wiiki ewedde lwaki abakyala obwenkanya bukyabeesambye ate nga bafungizza, abantu naddala abaami baawakanye nga bagamba nti obwenkanya abakyala baabufuna dda, era ne basaba bwiino.

Wabula ttooci ekubiddwa mu bitongole ebimu eraga nti Gavumenti erinako w’etuuse bwe yalonda abakyala okukulira ebitongole byayo ebimu naye bw’ogeraageranya mu bifo bitaano oba 10 mu bitongole ebyo, olaba nga minzaani ekyewunzikidde wa baami.

Enkulaakulana eyannamaddala esobola okutuukibwako ssinga abakazi n’abasajja baweebwa omukisa kenkanyi mu mirimu egitali gimu n’okukakasa ng’abaana abawala baweebwa obukugu obubasobozesa okwebeezaawo.

Kyo tekyewuunyisa nti enkulakulana yonna okutuukibwako, bakazi n’abasajja balina okugyenyigiramu butereevu anti n’okunoonyereza okwakolebwa ku makampuni 21,980 mu nsi 91 kwalaga ng’ekyabakyala okubeera mu bifo ebikulu bwe kyali kisobola okuleetera enkulaakulana n’entambula y’emirimu okweyongera.

OMUWENDO GW’ABAKYALA MU BIFO EBIKULU MU BITONGOLE EBITALI BIMU

Ng’abalala bwe bakyalindirira enkola zino nabo okubatuukako, bangi balowooza nti obwenkanya obw’ekika bwe kiti bwanditandikidde mu bitongole bya gavumenti byokka.

Mu ngeri eno, tukoze okunoonyereza mu minisitule n’ebitongole bya Gavumenti ebitali bimu okuzuula oba ng’obwenkanya bussiddwa mu nkola.

Wadde tulina minisitule eziwerako, ezikulirwa abakyala zikyali ntono ddala sso nga n’ezimu ku zino omuwendo gw’abakyala abali mu bukulembeze obw’oku ntikko mutono bw’ogeraageranya n’ogwabasajja.

1 Minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo; Wadde ng’eno ekulirwa mukyala wa pulezidenti, Janet Kataaha Museveni, ku bifo 5 ebisinga obukulu , 3 ku byo birimu basajja nga kuno kuliko; ekifo kya minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu, minisita omubeezi ow’ebyemizannyo wamu n’eky’omuwandiisi w’enkalakkalira.

Minisita omukyala aliko ye RoseMary Sseninde ng’ono ye minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako.

2 Ekitongole kya Kampala Capital City Authority; Ng’oggyeeko ekifo ky’akulira ekitongole kino, ebifo ebyenkizo ebirala kuliko; Minisita w’ensonga za Kampala n’emiriraano, minisita omubeezi owa KCCA, Loodi Meeya n’amumyuka wabula nga ku bifo bino byonna, 3 byokka bye bituuliddwaamu abakyala.

Bano kuliko; Betty Namisango Kamya nga ye minisita w’ensonga za Kampala n’emirirwano, Benna Namugwanya ng’ono ye minisita omubeezi owa KCCA ne Sarah Kanyike Ssebaggala ng’amyuka loodi meeya wa Kampala. Ku divizoni 5 ezitwalibwa ekitongole kino, divizoni emu yokka y’erina meeya omukyala ng’ono ye Joyce Ssebugwaawo era ono ye nga meeya wa divizoni ye Lubaga, abasigadde basajja.

3 Minisitule y’eby’obulamu; Eno ekulemberwa Dr.Ruth Jane Acheng, omuwandiisi wayo ow’enkalakkalira ye Dr.Diana Atwine sso ng’erina ne baminisita abenjawulo okuli; minisita omubeezi ow’eby’obulamu Sarah Achieng Opendi ne Joyce Moriku ng’ono ye minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako.

Ku bifo ebikulu ebisinga mu minisitule eno, ebifo 5 birimu bakyala olwo ebisigadde bya basajja, ekiraga obwenkanya.

4 Minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulakulana; Ekulirwa Janet Mukwaya. Abakulembeze abakyala abalala kuliko; Florence Nakiwala Kiyingi nga minisita omubeezi ow’ensonga z’abaana n’abavubuka wamu ne minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’obuwangwa, Peace Mutuuzo.

Abakyala bano abasatu okubeera mu kifo kino, kirekera abasajja ekifo kimu kyokka kw’ebyo 4 ebisinga obukulu mu minisitule eno nga ky’ekifo ky’omuwandiisi ow’enkalakkalira.

5 Minisitule y’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga; Ku bifo 5 ebisinga obukulu mu minisitule eno, 3 bitwalibwa bakyala ng’olwo ebibiri (ekya minisita omubeezi ow’amayumba n’ekya minisita omubeezi ow’enkulaakulana y’ebibuga) bye byatwalibwa abasajja.

Ku bino kuliko; ekifo ky’akulira minisitule eno nga ye Betty Amongi Ongom, minisita omubeezi ow’ettaka nga ye Persis Namuganza, nga kw’otadde n’omuwandiisi w’enkalakkalira Dorcas W. Okalany.

6 Minisitule y’ebyamasannyalaze n’eby’obugagga obw’omu ttaka; Mu bifo 5 ebiri mu kitongole kino, ebirimu abakazi biri 2 byokka nga kwe kuli ekya minisita akulira minisitule eno, Irene Muloni ne Prisca Bonabantu ng’ono akola nga ‘Under secretary.’ Wabula mu bitongole ebirala ebikwatagana obutereevu ne minisitule eno byonna bikulemberwa bakazi.

7 Ekitongole ekivunanyizibwa ku kukuhhaanya omusolo ekya URA; Mu bifo 5 ebisinga obukulu ku kakiiko akafuga ekitongole kino 4 ku bano abakyala era nga kuliko;

Doris Akol ng’ono ye komisona genero, Sarah Birungi Banage, amyuka kamisona genero, Milly Isingoma Nalukwago amyuka kamisona avunaanyizibwa ku kunoonyereza, okuteekateekera n’enkulaakulana nga kw’otadde ne Patience Emily Tumusiime Rubagumya avunaanyizibwa ku nsonga z’akakiiko ne by’amateeka.

8 Minisitule y’obusubuuzi, amakolero n’amakampuni; 2 ku bifo ebikulu mu ministule eno bye birimu abakyala nga kuno kuliko; ekya Amelia Kyambadde ng’ono y’akulira minisitule eno ne Grace Adong Choda akola nga ‘under Secretary’. Ebifo ebirala okuli; minisita omubeezi ow’amakolero, dayirekita w’eby’obusubuuzi n’amakampuni nga kw’otadde n’eky’omuwandiisi omukulu bonna basajja.

8 Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukola enguudo ekya UNRA; Ku kakiiko akakulu akaluhhamya ekitongole kino (board of directors) ak’abantu 7, kuliko omukazi omu yekka erang’ono ye, Allen Catherine Kagina ng’akatuulako nga mmemba.

Mu bifo 10 ebiddako, mulimu abakyala 4 bokka okuli; Allen Catherine Kagina ng’akulira ekitongole kino, Jennifer Kaggwa akola nga dayirekita ‘Human resource’, Mary Kamuli Kuteesa dayirekita w’ebyamateeka ne Ednah Rugumayo dayirekita ‘Corporate Services’.

9 Ekitongole ekirungamya amasannyalaze okuva lwe gakolebwa okutuuka eri omuntu agakozesa ekiyitibwa Electricity Regulatory Authority (ERA); Kino kikulemberwa (ERA) Ziria Tibalwa. Ebifo 5 ebiddako birimu abakyala 2 era nga bano bammemba ku kakiiko akafuga ekitongole kino.

Kuliko; Ambasada Joan Rwabyomere ne Dr. Sarah Wasagali Kanaabi. 10 Petroleum Authority of Uganda; Ssentebe w’akakiiko akafuga ekitongole kino ye Dr. Jane Mulemwa. Ku kakiiko kw’atuula, kuliko abakyala abalala 2 nga bammemba okuli; Dr. Immaculate Nakimera ne Doreen Kabasimbi Wandera.

Bammemba abalala 5 basajja. Ku kakiiko akaddukanya ekitongole kino akaddako, kuliko omukyala omu Peninah Ahebwa nga y’amyuka akulira ekitongole kino. Mu ngeri eno, ku bakulembeze abakulu 6 mu kitongole kino, kuliko omukyala omu yekka. 11 Ekitongole kya Uganda National Oil Company;

Akikulira ye Dr. Josephine Wapakabulo. Mu bifo 6 ebimuddirira, kuliko abakyala 2 bokka okuli; Proscovia Nabbanja ng’ono akola nga ‘Chief Operating Officer-Up stream’ ne Catherine Tumusiime nga ‘Chief Human Resource officer’. Akakiiko akafuga ekitongole kino kaliko ebifo 7 nga ku bino 3 bye by’abakyala.

Bano batuula ku kakiiko nga bammemba, okuli Eng. Irene Paula Batebe, Grace Tubwita Bagaya ne Stella Marie Biwaga.

12 Yunivasite ya Busitema; Ekulirwa mukyala nga ye Prof. Mary Jossy Okwakol. Ebifo ebibiri ebiddako okuli ekya eky’amyuka cansala n’ekyomuwandiisi wa yunivasite birimu basajja. Ku kakiiko ka yunivasite ak’abantu 23, kuliko abakazi 5 bokka okuli; Rosemary I. Mutyabule, Mercy Mugoowa, Professor Mary. J.N Okwakol, Dr. Alice Nakiyemba ne Peace Manake.

13 Minisitule y’abakozi n’ebyentambula; Ekulirwa Eng. Monica Ntege Azuba era ng’oggyeeko ono, omukyala omulala ali mu bifo 5 ebikulu mu minisitule eno ye Josephine Onya era ng’akola nga ‘Under Secretary’. Ebifo ebisigadde okuli ekya minisita omubeezi ow’abakozi, minisita omubeezi ow’ebyentambula n’omuwandiisi ow’enkalakkalira bonna basajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA