TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2019

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Deb2 703x422

SSAABASUMBA w’Eklisia y’Abasodokisi mu ggwanga, Metropolitan Jonah Lwanga agambye nti tebasinza bifaanaanyi wabula babiwa ekitiibwa kubanga byongera okuyamba abakkiriza okumanya n’okwekwata Abatukuvu mu ddiini.

Bino yabyogeredde mu mmisa gye yakulembeddemu mu kujjukira ssabbiiti y’Obusodokisi okujjuukirirwa okukomezebwawo kw’ebifaananyi mu klesia n’agamba nti omukkiriza bw’alaba ekifaananyi ayongera okwejjukanya ebikwata ku mutukuvu we kuba bangi tebaaliwo mu kiseera kyabwe.

Metropolitan Lwanga yategeezezza nti Omutukuvu Lukka ye yasooka okusiiga ekifaananyi kya Yesu n’abalala mu migiji egyaddirira ne bagenda nga bakola bwe batyo okutuusa lwe waggyawo enjawukana mu Eklesia ng’abamu balemwa okutegeera amakulu gaazo. Nga March 11, 843 olumu ku nkiiko z’ensi yonna lwatuula ne lukkiriza ebifaananyi bizzibwe mu klesia era nga kino kyakolebwa mu kiseera ky’okutandika Okusiiba.

Bwetyo klesia yasalawo buli wiiki esooka mu kisiibo, embaga eno ekolebwe. “Katonda waffe atwagaliza okutyaη− ηana, okuwaηηana ekitiibwa, buli omu atunule ku munne ng’obufaanane bwa Katonda.

Todda ku mukyala wo okumuligita emiggo, todda ku mwana wo kumwookya muliro. Ofaanana otya gwe akola bwatyo atyoboola ekifaananyi kya Katonda,” Metropolitan Lwanga bwe yayogedde ku muntu okubeera ekifaananyi kya Katonda ekitalina kutyobolebwa.

Lukka era ye yasooka okusiiga ekifaananyi kya nnyina Katonda Maria ng’oggyeeko okukola emirimu emirala egyatumbula Obukristo okuli n’okuwandiika enjiri eri mu Bayibuli. Ekisiibo ky’Abasodokisi kyatandiika nga March 11,2019 ku lunaku oluyitibwa Mmande ennyonjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba