TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2019

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Lip2 703x422

ABAWALA babuuliriddwa okwetaba mu kusiiba Mukama asobole okubawanguza embeera n’ebikemo bye bayitamu. Bino byababuuliriddwa Grace Namazzi akulira abawala ba Daughters of the King mu Busumba bw’e Bbira ku kkanisa ya All Saints e Nabukalu.

Yagambye nti ekisiibo buli Mukristaayo alina okukikozesa okusobola okulwanisa ebyandibadde bimulemese okubeera omutuukirivu mu maaso ga Katonda.

Agamba nti Ekisiibo kiyamba omuntu okweteekateeka mu maaso ga Katonda ng’ayita mu kwenenya n’okukola ebikolwa eby’Obutukuvu. Yakuutidde abawala okusiibira obulamu bwabwe obw’omu maaso Mukama asobole okubayamba basisinkane ababeezi ababasaanira nga batuuse okufumbirwa .

Yagambye nti okusabira obulamu bwo kya muwendo era kyetaagiisa Katonda n’akuyambako obutatomera baami bakyamu n’obutasanga buzibu mu biseera eby’omu maaso. Namazzi agamba nti Okusiiba kuwangula buli mbeera n’abawa ekyokulabirako ekya Eseza eyasiiba ennaku ssatu ku lw’ensi ye Mukama n’awulira okusaba kwe n’awangula. Eseza 9:13.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba