TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kazimba ayanjulidde Abakristaayo ssente Museveni ze yamuwadde e Kyankwanzi

Bp. Kazimba ayanjulidde Abakristaayo ssente Museveni ze yamuwadde e Kyankwanzi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

OMULABIRIZI w’e Mityana Dr. Stephen Kazimba ayanjulidde Abakulisitaayo b’e Madudu mu Buikwe ssente obukadde 11 ze yabasakidde mu lusirika lwa NRM gye baamuyise okubasabira.

Kuba 703x422

Bp . Kazimba n’ebbaasa ya ssente eyamuweereddwa Pulezidenti okusereka ekkanisa y’e Madudu. Ku kkono ekkanisa bw’efaanana.

Ssente Kazimba ze baamuwadde, yazanjudde mu mitendera, Pulezidenti Museveni yamuwadde obukadde butaano mu bbaasa, Janet Museveni n’amuwa akakadde n’ababaka abalala mikwano gye ne bamuwa akakadde buli omu naaweza obukadde 11.

Okumuwa ssente zino, yabategeezezza nti, yabadde yayitiddwa mu katale k’okusonda ssente z’okumaliriza ekkanisa y’e Madudu mu ggombolola y’e Kawolo e Buikwe era yabadde wakubaddukako mangu agende ku mukolo.

Wano pulezidenti we yamuweeredde obukadde butaano azitwale ziyambeko ab’e amawulire Lwamukaaga March 23 2019 Bukedde 9 Madudu.

Yasabye abakulikisitaayo okukola obutaweera okumaliriza omulimu gwe baatandika wadde munene nga bwe bagulaba. Yabasiimye n’agamba nti, sikyangu okusanga abakulisitaayo mu kyalo nga Madudu ne beekolamu omulimu ne bazimba ekkanisa.

Omulimu kati gwetaaga 168,3219,700/ okuggwa. Oluvannyuma omulabirizi Kazimba yabatizza abaana bana era n’asaba bekikwaatako okulaba ng’abaana bano babakuliza mu ddiini yaabwe.

Yakulembedde omukolo gw’okusonda ensimbi abantu mwe baagulidde ebintu ebiwerako ebyavuddemu ssente kyokka ng’ezikyetaagibwa ze nnyingi.

Ssaabadinkoni G.W. Kityo yasabye abakulisitaayo obuteetya nga bawaayo nga balowooza nti kye balina kitono n’agamba nti buli omu aweeyo nga bwasobodde awatali kuwalirizibwa nti kuba buli ssente eweebwaayo ebaako omulimu gwekola. Baasonze obukadde 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...