TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro e Nakasero

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro e Nakasero

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e Nakasero bategeezezza nti munafu nnyo. Akaluubirirwa okussa.

Godo 703x422

Emmotoka z’abakuumi ba pulezidenti wabweru w’eddwaaliro. Mu katono ye Pulezidenti Museveni ne sipiika Rebecca Kadaga

Pulezidenti Museveni eggulo (Lwakutaano) yagenze mu ddwaaliro e Nakasero okumulaba.

Omumyuka wa sipiikaJacob Oulanya ye yasoose okugenda mu ddwaaliro era kyategeezeddwa nti ye yawadde Pulezidenti ekifaananyi ku mbeera ya Kadaga.

Yaweereddwa ekitanda ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okukomawo okuva mu Amerika nga mugonvu.

Kyategeezeddwa nti Sipiika yabadde n’obuzibu bw’okussa kyokka bwe yatuusiddwa mu ddwaaliro n’ayongera okugonda.

Bukedde teyasobodde kukakasa kuva mu basawo bulwadde buluma Kadaga.

Pulezidenti yatuuse ku ddwaaliro e Nakasero ku ssaawa 5 n’eddakiika 40 ng’ali mu kyambalo ky’amagye.

Emmotoka ezimukulenbera zaasimbye bweru kyokka eyiye n’endala egigoberera ne ziyingira munda mu geeti y’eddwaaliro.

Yatwaliddwa mu kisenge omujjanjabirwa Kadaga gye yamaze eddakiika nga 15 n’afuluma n’agenda.

Kyategeezeddwa nti enteekateeka zaabadde zikoleddwa okutwala Kadaga ebweru kyokka abasawo ne bawabula nti yabadde akyali munafu nnyo okumussa ku nnyonyi nga beetaagayo akaseera okwongera okumujjanjabira e Nakasero.

Amyuka akulira ebyamawulirega Pulezidenti, H. Linda Nabusayi yategeezezza Bukedde ku ssimu nti Mw. Museveni yalambudde Kadaga kyokka embeera gye yamusanzeemu teyamusanyudde.

Abantu bangi okuli ebikonge bya Gavumenti n’ababaka ba palamenti baagenze mu ddwaaliro kyokka tebaasobodde kulaba Sipiika.

Abasawo baategeezezza nti yabadde tasobola kulaba bantu ate nga nabo betaaga okumukolako nga tebatataaganyiziddwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA