TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atongozza ebbibiro lya Isimba Ying. Badru

Museveni atongozza ebbibiro lya Isimba Ying. Badru

By Benjamin Ssebaggala

Added 23rd March 2019

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye nti oluvannyuma lw’okutongoza ebbibiro lya Isimba, kati bali mu kukuba kibalo okumanya emiwendo emituufu abantu gye bagenda okusasula.

Wano 703x422

Minisita Irene Muloni (ku ddyo) ng’alambuza Pulezidenti Museveni wansi mu bbibiro.

“Okutuuka ku muwendo omutuufu omuntu asembayo okukozesa amasannyalaze gw’alina okusasula olina kusooka kumanya abagakola aba UEGCL n’abagatambuza aba UEDCL omuwendo kwe bagakoledde okutuuka okugaguza ERA egereka emiwendo”, Julius Wandera omwogezi wa ERA bwe yannyonnyodde.

Pulezidenti Yoweri Museveni bwe yabadde atongoza ebbibiro ly’amasannyalaze erya Isimba Hydro Power Station ku Lwokuna e Busaana Kayunga, minisita w’amasannyalaze n’ebyobugagga eby’omu ttaka yinginiya Irene Muloni yategeezezza nti Isimba egenda kuwa obungi bw’amasannyalaze bwa 183 MW.

Isimba ezimbiddwa kkampuni ya China International Water and Electric Corporation. Nga bamaze okukola amasannyalaze mu bbibiro lino, bagaguza ekitongole ekigatambuza ku centa eza doola 4.8 buli yuniti (doola emu eya Amerika ebeeramu cents 100).

Simon Kashyate omwogezi wa UEGCL yategeezezza nti, okusinziira ku ndagaano eyakolebwa, bagenda kugatunda ku bbeeyi eyo okumala emyaka 50 nga bwe bakyusaamu basobola okukendeeza naye tebakkirizibwa kugongeza.

Ekiyinza okuyambako okukuuma ebbeeyi eyo lino ebbibiro ppya teryetaaga ssente nnyingi okuliddaabiriza nga bwe kiri ku bbibiro lya Nalubaale ne Kiyira abatunda amasannyalaze ku cents 1 naye nga beetaaga ssente nnyingi okulabirira ebyuma kubanga bikaddiye.

Wandera yategeezezza nti kikyali kizibu okugamba omuntu nti enkya agenda kukeera ng’emiwendo gikendedde mbagirawo kubanga bagereka emiwendo buli luvannyuma lwa myezi esatu.

Ekiseera kino emiwendo Uganda kw’etundira amasannyalaze gyamala dda okugerekebwa kyokka bali mu kukuba kibalo okugereka emiwendo gye bagenda okulangirira mu June omwaka guno nga wano omuntu w’agenda okumanyira enjawulo Isimba gy’ereese.

Kashyate yategeezezza nti okugereka emiwendo kiva ku nsonga nnyingi, ebbibiro limazeewo obukadde bwa doola 567.7 ng’ebitundu 85 ku 100 ku ssente ezo Uganda yazeewola mu Exim Bank e China egenda kuzisasula mu myaka 30.

AMASANNYALAZE GAZZE MU KITUNDU BULI OMU NOONYA BW’OGAFUNA

Museveni olwatuuse ku bbibiro n’alirambula ng’awerekerwako minisita Irene Muloni, omubaka wa China mu Uganda Zheng Zhungiang, abakozi mu kkampuni ya UEGCL baamututte mu byuma n’ateekako swiiki jenereeta ne zitokota.

Yasinzidde ku Isimba n’agamba nti, Gavumenti emaze okunyweza eddembe, ekoze enguudo, okuweerera abaana nga kati ebitundu 75 ku 100 basobola okusoma n’okuwandiika ekiddako kuzzaawo ggaali ya mukka.

Ebbibiro lino liyitibwa Isimba kubanga baalizimba mu kifo awaali ebiyiriro bya Isimba ku mugga Nile kyokka lisangibwa ku kyalo Nampaanyi, e Busaana mu Kayunga.

Museveni ayongerako nti byonna ebikoleddwa bituusa Uganda ku nkulaakulana era n’ebbibiro ly’amasannyalaze lye yatongozezza ligenda kwongera ku bungi bw’amasannyalaze n’abantu abali mu kitundu basobole okugafuna.

Wano we yasinzidde n’agamba nti enkuba esobola okutonnya omuntu n’atalembeka, n’akuutira abantu b’omu kitundu nti engeri gye bafunye amasannyalaze waakiri asobola atandikewo saluumi asobole okulembeka.

Ekitundu awasangibwa ebbibiro lino kisangibwa mu ggombolola y’e Busaana e Kayunga ku mugga Nile. Ekitundu ekirala ku ludda lw’omugga guno kiri mu disitulikiti y’e Kamuli e Busoga.

Omulimu gw’okuzimba gututte ebbanga lya myezi 47 okusinziira ku Jiang Shongou amyuka pulezidenti wa kkampuni.

Museveni yeebazizza Gavumenti ya China olw’enkolagana ennungi gy’erina ne Uganda n’ekkiriza okuwola Uganda ku magoba amatono n’emirimu ne bagikola mu bwesimbu kyokka abamu ku Bannayuganda ne baagala okuteekawo embeera eremesa.

Ying. Badir Kiggundu ssentebe w’akakiiko akalondoola emirimu gy’okuzimba Isimba ne Karuma, yategeezezza nti wabiwo emisango mingi egizze giwaabibwa abantu nga bagamba nti ssi bamativu n’engeri gye baaliyirirwamu.

Yayongeddeko nti, naye embeera eriwo ewa essuubi nti, gigenda kukomekkerezebwa. Museveni yakyukidda Bannayuganda n’abalangira omululu ng’agamba nti yeewuunya okuwulira nga awaliwo abantu be baaliyirira ate oluvannyuma ne beefuula ne bakomawo nga bagamba nti, amayinja agali wansi mu ttaka lye baabaliyirira nago baagala bagasasule lwago.

Yagambye nti guno gubeera mululu kubanga kisaana olumu omuntu ne yeeresa ebintu ebimu ku lw’enkulaakulana y’eggwanga egasiza awamu abantu.

Omubaka wa China mu Uganda Zheng Zhungiang yategeezezza nti gye buvuddeko mu lukuhhaana lw’abakulembeze ku byenfuna olwabadde e China ne Pulezidenti Museveni yalwetabyemu era China ne Uganda baatadde omukono ku ndagaano enyweza enkolagana mu by’obusuubuzi. Omukolo gw’etabiddwaako abantu ab’enjawulo okwabadde abakulembeze ab’ennono okuva mu bitundu eby’enjawulo, ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyobugagga eby’omu ttaka. n’omubaka omukazi owa Kayunga Aidah Nantaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA