TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde mu lutalo lwa Cindy ne Sheebah Karungi

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde mu lutalo lwa Cindy ne Sheebah Karungi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti be baliko kyokka nga tebamanyi na kuyimba.

Kaba 703x422

Vinka ne Kabakko bawolerezza Sheebah ne balumba Cindy

Abasinga ku bano bali na wansi wa bibiina (Record Labels) babakolera buli kimu omuli okubawa ennyimba, okusasula ba Dj okukuba ennyimba zaabwe n’ebirala era bano yabageraageranyizza ku ddole n’obugologoosi nti babalagira bulagizi eky’okukola.

Kino kyasaanudde abayimbi abali wansi w’ebibiina okufaananako Sheebah ali wansi wa (TNS) era mu baasoose okumwanukula ye Veronica Nalujja amanyiddwa nga Vinka owa Swangz Avenue. “Atuyise bugologoosi!!!

Nze ndowooza obwo butamanya. Ye y’atamanyi nti n’abayimbi ababaddeko ab’omutawaana mu nsi nga Whitney, Beyonce n’abalala bakoledde wansi w’ebibiina…… kirabika ye (Cindy) ye kagologoosi.

Wabula abawagizi ba Cindy baalumbye Vinka nti ave mu nsonga z’abakulu bano kuba boogera ku za bakazi ez’abasajja (Vinka bamutwala nga musajja olw’ekikula kye) zijja kujja oluvannyuma Kibi nnyo obutasiima bantu n’osalawo obavuluge kubanga gwe onoonya kukola mawulire.

Ye Roden Y Kabakko yagambye “neewunya Cindy okuba nti si musanyufu okulaba eyali mukwano gwe Sheebah ekintu akikuba.

Essaawa zino tosobola kupima Cindy ku Sheebah kuba Sheebah kati mazzi mawanvu ate ebyo ebya layivu by’ayogerako si nsonga kale Cindy akube layivu ye ne Sheebah akube CD, buli omu atwale eky’okulya eka.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...