TOP

Budaaki eyongedde ssente mu Harvest Money

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2019

OMUBAKA wa Budaaki mu Uganda atadde omukono ku kiwandiiko eky’enkolagana ne kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde okwongera okussa ssente mu mwoleso gwa Harvest Money emyaka emirala esatu mu maaso.

Goodness 703x422

Kabushenga (wakati), omubaka wa Budaaki mu Uganda Henk Jan Baker ne Josephat Byaruhanga (ku kkono) akwataganya eby’okulima n’okulunda ku kitebe kya Budaaki mu Uganda oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano.

Okusinziira ku Robert Kabushenga akulira Vision Group, endagaano eno eteereddwaako omukono okukakasa nti ekitebe kya Budaaki kissa ssente mu Mwoleso guno omwaka ogujja, mu 2021 ne 2022.

“Njagala okutegeeza Bannayuganda bonna nti kikakasiddwa nti omwoleso gwaffe gwakubeerawo emyaka esatu egiddako.

Omwoleso guno guyamba abalimi, abalunzi n’abalala abaliko bye bakola mu bulimi, obulunzi n’obuvubi okwongera okuyiga ebintu eby’enjawulo n’okutumbula emirimu gyabwe,” Kabushenga bwe yagambye.

Yeebazizza abantu abalala ne kkampuni abassa ssente mu mwoleso guno n’agamba nti guyambye nnyo okutumbula obulimi n’obulunzi mu Uganda.

“Waliwo abatusaba tutandike okutambuza omwoleso mu bitundu eby’enjawulo oba waakiri okugutegeka emirundi ebiri mu mwaka wabula kino kitegeeza ssente.

Kye tukakasa abantu nti buli mwaka omwoleso guno tujja kugwongerangamu ebinnonoggo n’ebyokuyiga,” Kabushenga bwe yagumizza.

Omubaka wa Budaaki mu Uganda, Henk Jan Baker yagambye nti kino bakikoze okulaba nga batumbula obulimi n’obulunzi mu Uganda okusobola okukyusa embeera za Bannayuganda.

“Nga Budaaki tuli basanyufu okulaba nga tusobola okuyamba okukyusa embeera z’abantu mu Uganda. Tukimanyi nti okulima n’okulunda Bannayuganda kwe bayimiridde mu byenfuna ng’okubitumbula kitegeeza kutumbula byanfuna byabwe,” Baker bwe yagasseeko.

Kabushenga yategeezezza nti omwoleso gw’omwaka ogujja (2020) gwakubeerawo nga February 14 - 16, 2020 era ng’enteekateeka egenda kwongera okubeera ey’omulembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala3 220x290

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza...

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba...

Unity 220x290

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti...

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte...

Kalekayihuraindeepthoughts 220x290

Abaserikale batulugunya batya abantu...

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….....

Nyiiga 220x290

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye...

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza...

Noda 220x290

Mmotoka ya Kitatta nayo eri ku...

ABDALLAH Kitatta we yabeerera omuyima wa Bodaboda 2010, alina abantu naddala aba bodaboda be yanyiiza ne be yakoleranga...