TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ISO eyingidde mu nkaayana z’ettaka okugobwa Bobi wine

ISO eyingidde mu nkaayana z’ettaka okugobwa Bobi wine

By Joseph Makumbi

Added 24th March 2019

EKITONGOLE kya gavumenti ekiketta mu ggwanga ekya ISO, kiyingidde mu nkaayana wakati w’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi, abatuuze b’e Kamwokya ne kkampuni ya Pearl Hope egamba nti ye nnannyini ttaka ly’e Kamwokya.

Mbuzi 703x422

Ssenfuka ng’alaga ekimu ku byapa by’ettaka ly’e Kamwokya.

Ku Lwokutaano, ISO yayise David Ssenfuka agamba nti y’omu ku bannannyini ttaka annyonnyole engeri gye yalifunamu.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, babadde baagala okutangaaza ku byayogeddwa mu lukiiko Bobi Wine lwe yayise wakati mu wiiki nti Gavumenti y’eyagala okubagoba ku ttaka.

Ssenfuka yagambye nti, Bobi Wine baamuwa ennaku musanvu zokka ng’avudde ku ttaka lyabwe. Ennaku zaaweddeko teyenyeenyezza.

Yagambye nti, ebbaluwa emulaalika okuva ku ttaka baagimuwa March 11, 2019 era ennaku zaggwaayo dda ng’ekiddako bagenda kusenda buli ekiri ku ttaka. “Bobi Wine ffe tetumumanyi ku ttaka kubanga engeri gye yasengako tetwagimanya nga bannannyini ttaka ate tetwagala kumumanya,” Ssenfuka bwe yagambye.

Yagasseeko nti, baagula ettaka mu 2003 ne baagala okusenda abantu abaaliko mu 2004 wabula abeebyokwerinda nga bakulemberwa eyali omubaka wa Pulezidenti mu Kampala ebiseera ebyo n’abagamba nti tebasobola kusengula bantu nga tebabawadde mukisa kwegula.

Yagambye nti, baabawa omukisa okuva mu 2003, ku bantu 400 abaali ku ttaka, abantu musanvu bokka be baasobola okwegula ne baweebwa ebyapa, abalala baatunda ne bava ku ttaka ne baguza abalala. Bobi Wine we yazimba Ssemakookiro Plaza yaligula mu 2012 okuva ku famire ya Gladys Nanyonga.

Abaamuguza tebaabategezaako n’eyagula teyatwala buvunaanyizibwa kweyanjula wa nnannyini ttaka kwe yasinzidde okugamba nti bbo tebamumanyi.

“Ettaka lyaffe liri yiika 26 lyonna awamu twaligula doola 800,000 kuliko abeebibanja ba biti bibiri be tumanyi ne betutamanyi kati Bobi Wine ali mw’abo be tutamanyi.

Twabawa omukisa beegule ne bagaana ettaka lyaffe twagala kulikozesa,” Ssenfuka bwe yagambye.

Yagasseeko nti, omukisa ogusigaddewo baaguwa oyo ayagala okuligula lyonna n’agamba nti Bobi Wine bw’aba ajja kwegula nga wa kibanja tebamukkiriza kubanga tebamumanyi kyokka bw’aba ayagala kugula ttaka lyonna bamwaniriza. Ettaka yagambye nti balitunda doola obukadde 25.

Ettaka eririko enkaayana, liri mu zooni ssatu okuli Kisenyi, Mulimira ne Old Kira e Kamwokya.

Ekitundu ekimu kiri mu Munisipaali y’e Nakawa ate ekirala kiri mu Kampala Central. Agamba nti, ettaka baaligula nga famire yaDavid Ssenfuka, Jane Ssenfuka ne Katarina Nanfuka bonna babeera Dubai.

Bobi Wine bwe yabadde mu lukiiko, yakubirizza abantu obutaganya Gavumenti kutwala ttaka lyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...