TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mabiriizi awakanyizza ekya Gavt. okuzimba eddwaaliro ly’e Lubowa

Mabiriizi awakanyizza ekya Gavt. okuzimba eddwaaliro ly’e Lubowa

By Benjamin Ssebaggala

Added 24th March 2019

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi atutte omusango mu kkooti ng’agisaba esazeemu ekiteeso palamenti kye yayisizza ng’ekkiriza Gavumenti okwewola obukadde bwa doola 379 okuzimba eddwaaliro ery’omulembe e Lubowa.

Yu1703422 703x422

Mabiriizi

Mabiriizi agamba nti palamenti teyagoberera mitendera mituufu ng’eyisa ekiteeso kino nga n’omuwendo gw’ababaka ogw’essalira tegwawera.

Okwo n’egattako okuyisa omuwendo gwa bukadde bwa doola 397 kyokka okusinziira ku ndagaano gye baakola n’abagenda okukola omulimu, ssente ezeetaagisa okugumaliriza ziri obukadde bwa doola 366 wano w’abuuliza eziyitamu obukadde 31 kye bagenda okuzikozesa.

Nga March 12, 2019 palamenti ng’ekubirizibwa Sipiika Kadaga yayisizza ekiteeso okwewola ssente baziwe kkampuni eneezimba eddwaaliro e Lubowa.

Omusango Mabiriizi yagututte mu Kkooti Enkulu ku Lwokutaano. Gye buvuddeko abasawo b’e Mulago nabo baatuuzizza olukuηηaana lw’abamawulire ne bawakanya omuwendo ogwayisiddwa nga bagamba nti ensimbi teziwa kifaananyi kituufu ekyetaagisa okukola omulimu.

Gavumenti egamba nti eddwaaliro lino bwe lizimbibwa libeera ligenda kujjanjaba endwadde ez’enjawulo okukendeeza ku ssente gavumenti z’ebadde esaasaanya okutwala abakungu baayo ebweru okujjanjabibwa.

Ensonga Mabiriizi ze yawadde mu mpaaba ye kw’ayagala kkooti esinziire okusazaamu ekiteeso kino ekiwa gavumenti olukusa okwewola ssente agamba nti emitendera palamenti mwe yayita okuyisa ekiteeso kino gyali gimenya amateeka era gikontana n’enkola entuufu erina okugobererwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.