TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ofiisa eyakwatibwa ng’asaba enguzi ya mitwalo 20 ayimbuddwa

Ofiisa eyakwatibwa ng’asaba enguzi ya mitwalo 20 ayimbuddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2019

KKOOTI eyimbudde ofiisa wa poliisi eyakwatibwa ng’asaba enguzi ya mitwalo 20, ku kakalu ka mitwalo 50.

Wa 703x422

Kalete

Omulamuzi Abert Asiimwe owa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi etuula e Kololo y’ayimbudde omuserikale Godfrey Kalete oluvannyuma lw’okutuukiriza obukwakkulizo bw’okweyimirirwa.

Kalete yasooka n’aleeta kitaawe omuto Patrick Sirari ne muganda we Micheal Kineti wabula teebalina bbaluwa za LC, omulamuzi n’agaana okumuyimbula.

Ku Lwokutaano baaleese ebbaluwa zzino era Kalete n’ayimbulwa.

Ofiisa ono ng’akolera ku poliisi ya Usafi e Katwe mu Kampala yakwatibwa nga March 11, 2019 bwe yasaba enguzi ya mitwalo 20 okuva ku Hanan Muhamad amuwe essimu ye okuva ku musibe eyali mu kaduukulu eyakwatibwa ng’agibbye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu