TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abapoliisi 43 bakubye Gav't mu mbuga z'amateeka lwa misaala

Abapoliisi 43 bakubye Gav't mu mbuga z'amateeka lwa misaala

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2019

ABAPOLIISI 43 abali ku ddaala lya kadeeti bawabidde gavumenti nga bagamba nti bagibanja omusaala oguweza obukadde 216 gw’ekyalemeddwa okubasasula. Bawabye mu kkooti enkulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku misango egitali gya naggommola (civil division ).

Received1636766056438202 703x422

ABAPOLIISI 43 abali ku ddaala lya kadeeti bawabidde gavumenti nga bagamba nti bagibanja omusaala oguweza obukadde 216 gw’ekyalemeddwa okubasasula. Bawabye mu kkooti enkulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku misango egitali gya naggommola (civil division ).

Abapoliisi abali ku ddaala lya kadeti  nga baakulembeddwa  Simon Peter Aimai,  bagamba nti omusaala ogwalina okubaweebwa gwakyusibwa ne kukendezebwa nga bakamala okuweebwa emirimu.

Baagala kkooti esalewo nti okukyusa kw’eddaala kwe balina okusasulwa erya U4 okuzzibwa ku U4 lower kwali kumenya ndagaano.Baagala ensimbi eziwera obukadde 216 zibasasulwe okuva mu November 2018 okutuusa January 2019.

Kigambibwa nti mu 2015 ,aba poliisi ab’eddaala lya kadeeti baweebwa emirimu  nga kyaddirira ekirango ekyalabikira mu New Vision.Bagamba nti baasunsulwa ne batwalibwa mu kutendekebwa e Kabalye police training School e Masindi. Era ne bawebwa emirimu nga bakadeeti  ASPs Science professionals.

Bagamba nti mu bajeti ya 2018 emisaala gy’abakozi ba gavumenti abaasoma sayansi gyayongezebwa  okuli n’egyabwe kyokka ensimbi zaabwe tezibawebwa.

            Omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambuye tanalaba ku kwemulugunya kwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...