TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asazeeko mukazi we obulago n’amabeere ng’abaana balaba

Asazeeko mukazi we obulago n’amabeere ng’abaana balaba

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Asazeeko mukazi we obulago n’amabeere ng’abaana balaba

Bod1 703x422

ETTIMA! Yasoose kumulabula emisana nga bw’ajja okumutta, omukazi n’abiyita eby’olusaago. Yagenze n’awagala ekiso n’akomawo n’abaako w’akiteeka era obudde olwazibye eyo nga ku ssaawa 4.00 ne bayingira obuliri okwebaka.

Yazuukuse ku ssaawa nga ziyingira 5.00 ez’ekiro n’abaka ekiso ke n’asalako mukazi we obulago ng’embuzi ng’abaana balaga n’okuwulira okulaajana kwa nnyaabwe. Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Ssande ku ssaawa 5:00 e Luteete- Gayaza. William Bizimungu, omutunzi w’amata ng’agatambuliza ku pikipiki bwe yavudde mu mbeera n’atta mukyala we Justine Kaitesi amanyiddwa nga Maama Rachael.

Yamusaze obulago ng’embuzi mu maaso g’abaana baabwe abasatu okuli n’owemyaka ebiri era ssinga abatuuze tebaayanguye kudduukirira kigambibwa nti nabo yabadde agenda kubatta. Olwamalirizza okumutta n’afuluma wabweru yenna ng’awaga n’okwewaana nti amaze okumutta n’ayita abatuuze naye bamutte. Wabula baamukubye emiggo n’avaamu omusaayi era poliisi we yatuukidde ekiro n’etwala omulambo mu ggwanika e Mulago ne Bizimungu n’atwalibwa okufuna obujjanjabi.

Ekiso kye yakozesezza abatuuze baakirabye nkeera wabweru. Rachael Batamuliza muwala waabwe omukulu ye yayise baliraanwa nga kitaabwe atabuse.

Abafumbo bano bazze bafuna obutakkaanya ng’omukazi agamba bba talabirira waka era azze anoba enfunda eziwerako n’akomawo olw’abaana nga ku Lwomukaaga ensonga omukyala yazitutte ku LC eyayise Bizimungu okuzigonjoola. Kigambibwa nti ebyavudde mu lukiiko bye byamunyiizizza n’agenda awagala akambe ke yakozesezza okumutta.

Bizimungu okuva lwe yafuna akabenje omwaka oguwedde abadde takyakola ng’alina gwe yawa amukoleko. Abatuuze bagamba nti ssente alina kuba alina enju z’abapangisa nga buli mwezi asoloozamu emitwalo 54 kw’agatta ez’amata. Waabaddewo okusika omuguwa mu ba famire zombi ku asigaza abaana.

EYADDUUKIRIDDE ENDUULU AYOGEDDE

Jawuhara Nakakawa muliraanwa eyasoose okudduukirira agamba nti omukazi abadde afumbira ku bugubi ng’ebiseera ebimu abadde anoba n’akomawo olw’abaana.

Nze olwawulidde enduulu nagenze mu nju yaabwe ne nsanga ng’ekisenge bakisibye ng’omukazi asaba buyambi. Nakutte ebitundu bya bbulooka ne nkuba oluggi ne lweggula ne ndeekaana nti totta mukazi.

Yavudde ku mukazi n’ambuukira ng’alina akambe ng’ayagala kunkuba ne nziruka. Abaana baabadde ku bitanda waggulu. Alina omupangisa avuga bodaboda eyamututte okuwagala ekiso era twabitegedde luvannyuma nti kye yakozesezzaOmwana omukulu annyonnyola     

Batamuliza muwala waabwe omukulu ow’emyaka 12 agamba: “Taata yafuna akabenje era abadde takyakola.

Azze ayomba ne maama okumala ebbanga kyenkana buli lunaku ng’entabwe eva ku taata kugaana kutuweerera n’okugaana okutugulira emmere awaka. Maama abadde ayomba nga yeebuuza gy’ateeka ssente kuba alina emizigo gy’abapangisa egiri okumpi ne we tusula.

Ku Lwomukaaga taata yagambye maama nga mpulira nti nja kukutta ne ng’amba maama aveewo agende n’anziramu nti mwana wange byonna bya Katonda. Bwe ng’enda ate mmwe mbalekere ani bw’anaaba asazeewo okunzita sirina kyakukola.

Taata yayambuseeko mu katawuni k’e Luteete bwe yakomyewo yasanze maama yeebase nga naffe tuli ku bitanda waggulu n’atugamba twebake. Baali baayawula ebitanda maama ng’asula yekka ne taata ng’asula ku kitanda kirala. Taata yagenze ku kitanda kya maama nga yeebase n’amutuulako n’atandika okumukuba. Nnakubye enduulu muliraanwa n’ajja n’akuba amayinja ku luggi ne nfuluma. Nnalese maama alaajana ng’asaba buyambi bajje bamutaase.

Olwo muto wange Steven Kakwaya yabadde asigaddeyo mu nnyumba era ye yalabye taata ng’afumita maama waffe.     

SSENTEBE W’EKYALO AYOGEDDE   

 Ssemakula ssentebe w’ekyalo agamba nti ‘‘ku Lwokumukaaga twatudde mu nsonga za Bizimungu ne mukyala we ng’omukyala agamba bba tabawa kyakulya n’ebyetaagisa ebirala era aba famire y’omusajja olukiiko baalubaddemu ne tuteesa ku Bizimungu akwate emizigo 4 ku 7 gy’alina aweeko omukazi asobole okufuna ky’aliisa abaana. Kino Bizimungu yakiwakanyizza omukazi n’amusaba amuwe kapito wa kakadde kamu afune ky’akola Bizimungu n’agamba nti ajja kusobola mitwalo 30 era n’agimuwa.

Yagasseeko nti ayagala omukazi ave mu nju amufunire omuzigo ku z’abapangisa kuba ye ayagala kuwasa mukazi mulala. Ekirala twateesezza Bizimungu awenga mukazi we 10,000/- buli lunaku ez’okuguliramu abaana emmere era ne tukola n’endagaano n’agiteekako omukono.

Akoze bubi okutta omukazi kuba amubeereddewo mu buli mbeera era mu 2009 yafuna akabenje omukazi n’amujjanjaba. Mu 2018 yaddamu n’afuna akabenje era omukazi n’amujjanjaba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.