TOP

Katikkiro Mayiga awadde abazadde amagezi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Katikkiro Mayiga awadde abazadde amagezi

Lip2 703x422

Mayiga ne Bp. Kakooza ku bikujjuko bya Namilyango College.

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye abazadde okuteeka amaanyi mu kusomesa abaana baabwe mu masomero agalina omusingi omuggumivu. Yagambye nti okusomesa omwana ky’ekyobugagga ekisinga omuzadde ky’ayinza okuwa omwana.

“Abazadde abamu essira baliteeka ku kuteekerateekera abaana mu kifo ky’okubateekateeka ekitali kituufu. Tuleme kubategekera byabugagga omuli okubagulira emmotoka, ettaka, okubakolera amakolero oba okubawa emigabo mu makolero.

Ebyo byonna temuli makulu okuleka okusomesa omwana mu ssomero eririna omusingi omunywevu era eggundiivu,” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.

Yabadde ayogera eri abazadde, abayizi, abasomesa n’abaasomerako mu ssomero lya Namilyango College bwe lyabadde lijaguza emyaka 117 bukya litandikibwa abaminsani aba Mill Hill Fathers. Essomero lino lisangibwa mu ggombolola y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono mu disitulikiti y’e Mukono.

Ebikujjuko byabaddewo ku Lwamukaaga. Katikkiro yakalaatidde abayizi n’agamba nti okuyita n’obubonero obwawaggulu oba okufuna diguli eyaawaggulu ku yunivasite si kye kitegeeza obuwanguzi mu nsi wabula ekyo guba musingi ku lugendo lw’obuwanguzi. “Okusomera mu ssomero nga Namilyango College mukisa, ate omukisa tegwogera, gwe olina okumanya nti wooli waliwo omukisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.