TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala baloopedde Nnabagereka empisa z'abasajja

Abakyala baloopedde Nnabagereka empisa z'abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Abakyala baloopedde Nnabagereka empisa z'abasajja

Hit2 703x422

Omu ku baayolesezza ng’annyonnyola Nnaabagereka (owookubiri ku ddyo), Pookino Ssebowa Mayiga (ku kkanzu), Omuzaana Nankya (ku ddyo), omubaka Kabanda ne Florence Namayanja (ataddeko gaalubindi).

ABAKYALA b’e Masaka baloopedde Maama Nnaabagereka Sylivia Nagginda ng’abasajja bwe basusse okudduka awaka n’okusuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe nga kati bangi be beerabiririra n’okuweerera abaana baabwe.

Omubaka w’e Masaka omukazi, Mary Babirye Kabanda ye yaloopedde Nnaabagereka enneeyisa y’abasajja ku lw’abakyala abalala ne bamusaba abagambire ku basajja balekere awo ‘okubanobako’. Yagasseeko nti omuze guno gusinga mu basajja abamaze okuzaala mu bakyala era nga buli lwe baweza abaana bataano ng’abasajja badduka!

Yagambye nti kino akirabidde nnyo mu bakyala abaddukira mu kitongole kye ekya Babirye Kabanda Foundation okusaba okubayamba olw’abasajja ababaddukako!

Yawagiddwa omubaka wa Bukoto East, Florence Namayanja naye eyeekokkodde abasajja abazaala abaana mu bakyala abaliko obulemu ate ne babasuulawo!

Abakyala baabadde mu kukuza olunaku lw’abakyala mu Buganda olwabadde ku mbuga ya Pookino ku Ssaza e Masaka mu Buddu nga lwatambulidde ku mulamwa Ogwokunyweza obuntu bulamu mu maka ng’ensibuko y’obugunjufu’’ ng’omukolo gwetabiddwaako ebikonge naddala abakyala okuva masaza ag’enjawulo mu Buganda.

Nnaabagereka eyabadde awerekeddwaaako Namasole Margaret Siwoza n’Omuzaana Marion Nankya, Minisita Mariam Mayanja n’abalala yasoose kulambula abatuuze ab’enjawulo abatwalibwa nga eky’okulabirako mu buyonjo mu maka mu nkola ‘’Ey’akaalo Amateendo’’ ku kyalo Kiyanja mu Ggombolola y’e Mukungwe.

Ku mbuga y’essaza e Masaka Nnaabagereka ng’akulembeddwa Pookino Vincent Ssebowa Mayiga yalambudde emidaala gy’abakyala abaayolesezza bye bakola mu Buganda n’oluvannyuma n’amwanjulira amakula. Nnaabagereka yasabye abakyala baleme kwetuulako kulera ngalo wabula babeere bakozi era n’abakalaatira okukolera awamu n’okubeera abeerufu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA