TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwetissi w'amanda aleppuka na gwa kukwata mukazi

Omwetissi w'amanda aleppuka na gwa kukwata mukazi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

OMWETISSI w’amanda agambibwa okukaka omukozi w’ebbaala omukwano akwatiddwa, omuwala bamututte mu ddwaaliro ng’embeera mbi.

Nyiga 703x422

Sserunjogi eyakwatiddwa.

Dennis Sserunjogi 24, omwetissi w’amanda yakwatiddwa abakulembeze ba LC ya Ddobbi zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ne bamukwasa poliisi y’oku Kaleerwe oluvannyuma lw’omuwala (amannya gasirikiddwa) okumulumiriza nga bwe yamuvumbiikirizza mu bbaala mw’akolera n’amukaka omukwano.

Yagambye nti Sserunjogi yasoose kugula mwenge n’agulira n’abaabaddemu kyokka bakasitoma abalala baafulumye ye n’alemeramu okukkakkana ng’amukutte namusobyako.

Ensonga yazitutte ku LC eyamwongeddeyo ku poliisi nga bino by’abaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga nga kati omuwala takyasobola okutuula.

Ku Lwomukaaga Sserunjogi yakwatiddwa n’akakasa nti kituufu omuwala yamusobyako naye tamanyi lwaki yakikoze n’asaba ekisonyiwo.

“Omuwala seegaana namukozesezza, naye nsaba kisonyiwo sigenda kuddamu kuba saategedde lwaki nakikoze.” Sserunjogi bwe yategeezezza.

Meddie Ssekate akulira ebyokwerinda mu Ddobbi zooni yategeezezza nti Sserunjogi azze asobya ku bawala ku mpaka nga ne gye buvuddeko baamusanga lubona ng’alina gwafundirizza ku kisenge bwe yabalaba nadduka.

Omusango guli ku poliisi y’e Wandegeya ku fayiro nnamba SD REF: 37/23/3/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA