TOP

Enkola ya Gavumenti ku nsingo etongozeddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Enkola ya Gavumenti ku nsingo etongozeddwa

Hot2 703x422

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’obulimi mu Uganda, Pius Wakabi ne dayirekita w’ekitongole ky’abalimisa mu minisitule y’obulimi Beattice Byarugaba nga basala akagwa okutongoza enkola y’okuluhhamya ensigo z’omutindo.

UGANDA etongozza enkola eneerambika ebikwata ku nsigo mu ggwanga mu kaweefube w’okutumbula obulimi nga bizinensi n’okusitula ebyenfuna.

Enkola eno esookedde ddala mu Uganda eteekeddwateekeddwa minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi ng’eyambibwako ekitongole kya Integrated Seed Sector Development (ISSD) Uganda ekissibwamu ssente eggwanga lya Budaaki, USAID ne Feed the Future okuva mu Amerika. Etongozeddwa ku Protea Hotel mu Kampala.

Astrid Mastenbroek, akulira ekitogole kya ISSD agambye nti, ekigendererwa kwe kuyambako Uganda okutuukiriza ekirooto kya Bannayuganda okukola bizinensi y’obulimi nga bafuna ensigo eziri ku mutindo ezisobola okubawa ekisingawo.

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’obulimi mu Uganda, Pius Wakabi akiikiridde minisita Vincent Bamulangaki Ssempijja bw’abadde atongoza enkola eno agambye nti, yaakuyamba Uganda okwongera okufuna mu nsigo ez’omulembe. “Enkola eno yaakutunuulira ensigo okuviira ddala ku banoonyereza okukakasa nti ebinoonyerezebwako n’ebiva mu kunoonyereza bye byetaagibwa mu ggwanga okutumbula obulimi nga yaakutunuulira okwazisa ensigo, kkampuni ezizitunda n’ebirala byonna ebikwata ku nsigo”, Wakabi bw’agamba.

Yagambye nti, Uganda ebeera n’enkola ennungi wabula bwe gutuuka ku kuzissa mu nkola, omulimu ne gusigalira minisitule yokka ate nga nayo terina busobozi kulondoola buli kikolebwa. Noolwekyo buli omu akwatibwako okulaba ng’amateeka amalala agalambika eby’ensigo gassibwa mu nkola.

EBIKULU MU NKOLA ENO Okunyweza n’okutumbula okunoonyereza: gavumenti yaakuwagira okuvumbula ensigo ezitambulira ku byetaago by’abalimi n’akatale okutumbula ebyenfuna, emmere n’ebiriisa.

Kino yaakukikola ng’ewagira ebitongole by’obwannannyini n’ebya gavumenti, okussa mu nkola etteeka erikuuma ebirime eby’enjawulo okuwagira okufulumya ebika by’ensigo ebipya, okubiwandiisa n’ebirala.

Okukozesa ensigo ennansi: okunyweza okulondoola n’awawandiisizibwa ensigo ennaansi mu bitundu n’eggwanga lyonna, okutondawo etteeka eppya okukuuma amagezi g’edda ag’okukuuma ensigo n’obwannannyini bw’ebitundu, okuzimba obusobozi bw’abalimi n’ebibiina mu bitundu omuli n’ebitwalibwa abakyala n’abavubuka okukuuma ebirime ebinnansi n’okuyambako okuzimba n’okukuuma awaterekebwa ensigo zino mu bitundu.

Okufulumya ensigo z’omutindo: gavumenti yaakussaawo embeera esobozesa kkampuni ezikola ensigo okufulumya n’okutuusa ku bantu ensigo z’omutindo era ezisikakasiddwa. Okunyweza okutambuza n’okutunda ensigo: Gavumenti ya kutumbula enkola y’okutambuza ensigo z’omutindo okwongera enkozesa yaazo eri abantu ba bulijjo.

Ejja kuwagira kkampuni enkozi z’ensigo okusiba ensigo mu bipimo ebitono okulaba nga buli mulimi asobola okukozesa ensigo ezikakasiddwa, okuwagira amaduuka g’ensigo naddala mu byalo. Okutumbula okuvuganya mu ggwanga n’amawanga g’ebweru: Gavumenti ejja kukakasa nga wabaawo okufulumya ensigo z’omulembe ez’akatale ka kuno n’amawanga g’ebweru.

Okuwagira ebitongole ebikwataganya eby’ensolo n’okutuusa empeereza ezituukiridde, obuuma obukebera ensigo, firiigi mu materekero n’ebirala ku nsalo ez’enkizo. Okunyweza enkola z’okukakasa omutindo gw’ensigo okuyita mu mitendera gyonna: Gavumenti ejja kukakasa nti ensigo z’omutindo era ezitalina bulabe zibaawo ku katale okusinziira ku bwetaavu bw’abalimi.

Wano yakunyweeza n’okukwasisa enkola y’okukebera ensigo n’okuziramba, okuluh− hamya omutindo gwa kkampuni z’ensigo n’ekifo ky’eggwanga wakebererwa ensigo wamu n’okutondawo enkolagana wakati w’abantu ba bulijjo ne gavumenti okukuuma omutindo gw’ensigo.

Okukakasa omutindo gw’ensigo: Gavumenti ejja kufulumya n’okutunda ensigo z’omutindo, yaakussaawo amateeka ku nsigo, okussaawo awawandiisibwa kkampuni z’ abakola ensigo okwanguya okulondoola ensigo okumanya gy’evudde n’okufulumya olukalala lw’ensigo ennansi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...