TOP

Abayizi boolesezza ebyobulimi n’obulunzi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Abayizi boolesezza ebyobulimi n’obulunzi

Fub2 703x422

Omuyizi ng’annyonnyola bye balima.

ABAKULIRA amasomero mu disitulikiti y’e Mukono, Wakiso ne Buikwe bakubiriziddwa okufaayo okusimba emiti gy’ebibala, okuzzaawo ennimiro, n’obulundiro obutono ku masomero abayizi kwe basobola okuyigira ebyobulimi n’obulunzi kiyambe eggwanga okubateekateeka okwagala obulimi n’obulunzi.

Akulira eby’okulambula amasomero mu disitulikiti y’e Buikwe Muky. Joyce Nalubega yakunze abakulu b’amasomero, abazadde n’abasomesa okufaayo okulaba nga ku masomero gaabwe kusimbibwako ebibala n’okuzzaako ennimiro n’obulundiro obutono abayizi kwe bayigira ebyobulimi n’obulunzi nga bwe kyabeeranga edda.

Yeebazizza aba Hivos, n’ebitongole ebirala ebivuddeyo okuyamba abaana n’abavubuka okwettanira ebyobulimi n’obulunzi nga bakyali bato n’ategeeza nti enteekateeka eno ejja kuyamba eggwanga okufuna abayiiya mu byobulimi n’obulunzi Yagambye nti ng’oggyeko ebyobulimi okuvaamu ensimbi, ebibala mmere nnungi eri obulamu bw’omuyizi kubanga bimuyamba obutatawaanyizibwa ndwadde n’asoma bulungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA