TOP

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gat2 703x422

POLIISI ye Matugga erwanaganye n’abatuuze ku kyalo kye Kiti nga etaasa abasajja babiri abagambibwa nti babadde bamenya amayumba g’abatuuze.

Abakwatiddwa kuliko Wasswa Swalik 30 ne Kenedy Sekajja 34 abatuuze mu kitundu kino nga bano poliisi okutuuka okulwanagana n’abatuuze kyaddilidde okutemezebwako era bwebagenze okubataasa abatuuze nebagala okubabagyako wano poliisi kwekubasinza amaanyi era ekyaddilidde kwekubatwala ku poliisi wakati mu bukuumi obwamanyi.

Abakwate buli omu abadde alumirizza munne nga bwamenya amayumba g’abantu era nga buli agamba nti yalina ebyuma ebimenya amayumba g’abantu.

Ye akulira ebyokwerinda ku kyalo kino Mohammad Nsubuga yagambye nti abasajja bano balina ekibinja kinene nyo nga bano okubakwata abatuuze babekengedde bwebatyo kwekutegeeza abobuyinza era navumirila ekyabatuuze okwagala okutwalira amateeka mu ngalo.

Abakwate bano bakuumibwa ku poliisi ye Matugga nga okunonyerezzabwekugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...