TOP

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Hip2 703x422

Minis ita Sarah Opend nga yenyigidde mu kuyonja amannyo e Kayunga

ABASAWO  b'amannyo bakuzizza olunaku lw'okuyonja akamwa mu Kayunga ne basaba  gavumenti  okugaziya amalwaliro agajjanjaba akamwa n'amannyo  okutuuka ku bujjanjabi obuli ku  health centre IIIs.

Bino byayogeddwa mu kujjaguza olunaku  lw'okuyonja akamwa mu nsi yonna ( World Oral Health day ) olwategekeddwa e Kayunga girls’ school , Dr Twaha  pulezidenti  w'ekibiina ekijjanjaba amannyo ( president Dental Association} yategeezeza nti abasawo bamannyo abali ku ddala lya Diploma bajjanjababira  health centre IVs, ate abalongoosa amannyo batuuka ku disitulikiti n'amalwaliro amanene agali mu ggwanga.

"Omusawo omu ow'amannyo ajjanjaba abalwadde abali wakati 25,000 ne 60,000  ku malwaliro agali ku health centre IV  nagamba nti omuwendo guno munene nnyo ku musawo omu okujjanjaba abantu abo bonna "Dr. Ayub bwe yategeezezza.

Minisita  ow'egwanga owaguno naguli Sarah Opendi ategeezezza nti mu kiseera kino eggwanga mulimu  abakugu b’amannyo   300 dental surgeons  era 75 ku 100 bakolera mu Kampala  ebyalo ne bisigazaawo 25 ku 100.

Omukugu mu mannyo (dental surgeon) ye musawo eyakuguka mu ndwadde z’amannyo , okuzekebejja , okuziziyiza saako n’okujjanjaba endwadde z’akamwa zonna.

Opendi yategeezezza nti abasawo abateekeddwa okukolera ku  disitulikiti ne malwaliro amanene tebakola olw’okubulwa ebyuma ebikozesebwa mu malwaliro gano.

“Amannyo gabeeyi okugajjanjaba  y’ensonga lwaki gavumenti eremererwa okutuukiriza byonna abakugu  bye bitaaga  mu malwaliro  ekibaviirako okwenonyeza amalwaliro g’obwananyini gye bakolera ate ng’abantu abasinga obungi beeyi y’amalwaliro g’obwanannyini tebagisobola “ Opendi bwe yategeezezza .

Okusinziira ku minisitule ye byobulamu  50 ku 100 amalwaliro ga gavumenti tegalina basawo bamala nga batendekeddwa mu mannyo .

Yakubirizza abantu okusennya amannyo ku makya  n’ekiro nga bagenda okwebaka.Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekye byobulamu  (WHO) endabirira y’amannyo ye kyasinze okubeera enzibu mu nsi yonna era y’evaako amannyo okulwala.

Okunoonyereza okwakolebwa Mu 2015  abavunda amannyo mu nsi yonna  bali 2.3 billion  ate baana  bali 560 abavunda amannyo.

Mu nsi zimufuna mpola , abasing obungi tebajjanjaba mannyo era abasing bagenda mu malwaliro nga bali bubi nga takyasobola kulya n’okwebaka era olumu obulumi buno buyinza okuleeta endwadde endala.

Dr. Ahmed Matovu Akulira ebyobulamu ku disitulikiti (DHO) ategeezezza nti ebbula lye bikozesebwa mu malwaliro ge Kangulumira ne Bbaale kikosezza abantu bangi abetaaga obujjanjabi  ate mu Kayunga endwadde eziva mu butalongoosa kamwa zivaako okulwaza  ebibuno, okuvunza amannyo okugegera.

    Ku lunaku luno abayizi 1,000 okuva mu massomero agenjawulo mu Kayunga bakuuliddwa amannyo era ne bayigirizibwa  okugayonja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...