TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Kit2 703x422

Kitatta ng'ali mu kkooti y'amagye er Makindye

OLUDDA lwa Abudallah Kitatta omuyima wa Boda Boda 2010, lumalirizza okuwa okwewozaako mu kkooti y’amagye ssentebe waayo, Lt. Gen. Andrew Gutti naalagira akyusibwe aggyibwe mu kkomera ly’amagye e Makindye atwalibwe e Luzira.

Looya w’oludda oluwaabi Maj. Samuel Masereje yasoose kusaba Kitatta atwalibwe mu kkomera e Kigo. Kitatta alaze obutali bumativu na kusindikibwa Kigo ne looya we Shaban Sanywa nakkiriziganya naye nti ekkomera ly’e Kigo teririna bukuumi bumala eri muntu we n'agamba nti kyonna ekimutuukako ng’ali Kigo, Gavumenti yejja okuvunaanyizibwa.

Gutti agambye nti, bwekiba nga balina kyebeemulugunya ku Kigo, e Luzira tewaliiyo buzibu kubanga n’omusango guli kumpi okuggwa kwekulagira atwalibwe e Luzira kyokka nayo Sanywa yabadde si mumativu na kumutwalayo.

Agambye nti, kyonna ekituuka ku Kitatta, Gavumenti yejja okuvunaanyizibwa kubanga teyesiga byakwerinda byaayo nga bwegubadde ku kkomera ly’amagye e Makindye. Yagambye nti,Kitatta abadde mumativu n’embeera gyabaddemu e Makindye talaba lwaki bamuggyayo nga basobola n’okulaba abaali batwalidde omusibe Abdul Noor Ssemuju obutwa nebabakwata.

Ssentebe Gutti yabagumizza tewali kigenda kutuuka ku Kitatta mu kkomera e Luzira kubanga ebyali bimweraliikiriza byatereezebwa.

Kittatta kkooti y’emu yasooka kumusindika Luzira kyokka oluvannyuma Gutti naalagira aggyibweyo azzibwe mu kkomera ly’amagye e Makindye olw’ensonga z’ebyokwerinda bye. Omusango guddamu nga April 8 okuwumbawumba obujulizi ku njuyi zombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Mulunde ebyennyanja - Museveni...

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe