TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnaalongo akubye omwana wa muggya we n’amutta: Kitalo!

Nnaalongo akubye omwana wa muggya we n’amutta: Kitalo!

By Paddy Bukenya

Added 25th March 2019

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Web 703x422

N naalongo Nakigozi gwe baakutte ku by’okutta omwana wa muggya we.

Nnaalongo Zaina Nakigozi 36, omutuuze w’e Mpambire mu Mpigi town council ye yatugumbudde omwana wa muggya we Sharitah Nassuuna 9, oluvannyuma n’addukira ku poliisi ng’atidde abatuuze okumugajambula n’alimba abaserikale nti omwana abadde mulwadde.

Baliraanwa ba Nakigozi baasoose kuwulira mbirigo mu nnyumba nga Nakigozi akuba omwana wa muggya we (omugenzi Nasuuna) oluvannyuma n’atandika okumukoona ku kisenge wabula ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro ne wabaawo akasiriikiriro.

Obudde bwe bwakedde Nakigozi yagenze ewa muliraanwa we ng’amusaba amazzi agookya amuyambeko okugolola omwana ono.

Bwe yamubuuzizza ekimusse n’amutegeeza nti yabadde mulwadde wabula muliraanwa yatemezza ku balala kyokka baagenze okutuuka ku mulambo nga gujjudde enkwagulo mu bulago nga guliko n’ebisago eby’amaanyi ku mutwe.

Nakigozi bw’alabye baliraanwa be batabuse n’addukira ku poliisi y’e Mpigi n’abategeeza ng’omwana wa bba bw’abadde omulwadde kyokka poliisi n’emukwata n’emuggalira.

TAATA ALUMIRIZZA MUKAZI WE OKUMUTTIRA OMWANA

Ssaalongo Yasin Kalema 40, omukinjaagi mu lufula e Ndeeba mu Kampala nga ye taata w’omwana alumirizza mukazi we okutuntuzanga omwana we n’agamba nti abadde ateekateeka kumuggyawo afune w’amuteeka.

Ssaalongo eyabadde mu maziga, yategeezezza poliisi nti akubidde mukazi we essimu ku makya n’amulimba nti abaana bonna bali bulungi kyokka bwe waayise eddakiika ttaano n’amugamba nti omwana afudde ekimuleetedde okubuusabuusa nti yandiba ng’abadde alina ky’amukweka.

Agasseeko nti okusinziira ku bisago by’asanze mu bulago bw’omwana talina kubuusabuusa nti yattiddwa nnyina.

POLIISI EZUDDE EMIGGO MAAMA GYE YAKUBISIZZA OMUGENZI

Bambega ba poliisi y’e Mpigi mu kukebera ennyumba, baagudde ku miggo Nakigozi gye yakubisizza Nassuuna ng’amulanga okulwa ku luzzi.

Poliisi esanze ebisago eby’amaanyi ku mutwe gw’omugenzi, enkwagulo mu bulago n’okuzimba omubiri gwonna ekiraga nti yakubiddwa nga kyandiba nga kye kyamusse.

Wabula Nakigozi yeegaanyi okukuba omwana n’asaba poliisi etwale omulambo ezuule ekyamusse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Mulunde ebyennyanja - Museveni...

Mulunde ebyennyanja - Museveni

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe