TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

By Benjamin Ssebaggala

Added 25th March 2019

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Lib2 703x422

Asuman Basalirwa omukulembeze wa JEEMA

MUNNAMATEEKA Asuman Basaalirwa agambye nti waliwo abantu abamaze okubaga enteekateeka okutwala ssabawolereza wa gavumenti mu kkooti bamuvunaane ng’omuntu olw’okunyomoola ebiragiro bya kkooti ensikkulumu.

Basalirwa ye pulezidenti wa JEEMA asinzidde mu lukung’aana lw’omukago ogugatta ebibiina by’obufuzi mu ggwanga (IPOD) KU PROTEA Hotel e Kololo.

Ategeeza nti ebimu ku bye baayogerako ne pulezidenti Museveni mu lukung'aana olwali e Munyonyo gye buvuddeko kwaliko okuteeka mu nkola kkooti y’okuntikko bye yalagira okukyusa mu tteeka ly’ebyokulonda.

Mu musango gw’ebyokulonda Amama Mbabazi gwe yawawaabira Museveni mu 2016, kkooti bwe yali ewa ensalo yalagira nti wabeerewo ennongoosereza ezikolebwa mu by’okulonda nga zino gavumenti erna kuziteeka mu mateeka ng’ekola ennongoosereza mu ssemateeka kyokka ekiseera kirabika nga kiyiseewo tewali kikolebwa.

Olukung’aana luno lubadde ku omukolo ogw’okukyusa obukulembeze bwa IPOD okuva mu UPC okudda mu DP.

Pulezidenti wa UPC Jimmy Akena waakwatidde bendera n’agikwasa Nobert Mao owa DP ng’akabonero kookukyusa obukulembeze. Obukulembeze buno ekibiina kibutwala okumala ebbanga lya myezi mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...