TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Miss Uganda atongozza okubunyisa amasanyalaze g'enjuba mu maka 10,000

Miss Uganda atongozza okubunyisa amasanyalaze g'enjuba mu maka 10,000

By Samuel Balagadde

Added 26th March 2019

Miss Uganda atongozza okubunyisa amasanyalaze g'enjuba mu maka 10,000

Lap2 703x422

Abenakyo ng'ayogera

NNALULUNGI wa  Uganda  Quiin Abenakyo atongozza  kawefube w'okubunyisa amasanyalaze  g'amaanyi g'enjuba mu  byalo n'amaka 10,000.

Abenakyo  ng'ayita mu kibiina kya Miss  Uganda  Foundation  ne MAAD  McCann bali mu kawefube w'okulaba ng'abantu abali mu byalo   naddala abatalina  busobozi  bwa kweyunga ku masanyalaze ga  Umeme nga nabo  bafuna ku kitangaala  ate ku ssente entono.

Abenakyo mu kutongoza  kawefube  ono ku Hotel Africana ku  Lwokubiri yagambye nti ekitangaala   kiyinza  okureetawo enjawulo naddala eri omwana  ow'obuwala  kuba  bebasinga okukosebwa  mu kizikiza.

 Nga bayita mu makampuni ag'enjuwula  n'abantu ba ssekinnomu  n'ebibiina bya bakyewa  baagala  okulaba nga  bayambako  okutuukiriza kawefube ono ku 550,000/-buli Solar ey'ettaala ennya

 Yagambye nti ekitangala  kitangira obumenyi bw'amateeka  n'ebikolwa  eby'effujjo  ebitera  okukolebwa mu kizikiza  ssaako  n'okutaasa  obubenje  n'endwadde eziva  ku ttaala za tadooba.

Ye George Mutabaazi ssentebe wa disitulikiti ye Rwengo yagambye nti enkola ya  Solar yasooka kubunyisibwa mu kitundu kye mu mwaka 2014 wabula nga  yatumbudde eby'enjigiriza  kuba ettaala ennya  ezigabibwako kyatteeka  emu essibwa mu ddiiro , emu wabweeru w'ennyumba mu maaso n'emmanju endala mu kisenge ky'abaana  basobole okuzuukuka okusoma ekiro.

Kino kyongedde ku bungi bw'abaana abayitira mu ddaala erisooka mu Rwengo ssaako n'obungi bw'bo abagwa\

Ye  Captain Mike Mukola  yalaze obwetaavu bw'okwongera okubuinyisa amasanyalaze g'amaanyi g'enjuba mu ggwanga  okusobola  okweyambisa omukisa gw'embeera  y'obutonde mu ggwanga  ng'akasana  kaaka bu buli lunak

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza