TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Bosco Kataala ebintu tebimutambulira bulungi: Omukyala anobye abaana n'abasuulira nnyina

Bosco Kataala ebintu tebimutambulira bulungi: Omukyala anobye abaana n'abasuulira nnyina

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2019

SIRAJE Kasirye eyayatiikirira ennyo omwaka oguwedde olw’okukola akalango ka MTN momo mu njogera ennyangu oyinza okugamba nti baamuyoola ettaka anti ebibye tebikyatambula bulungi naddala mu nsonga z’ebyensimbi.

Pata 703x422

W’osomera bino nga n’abaana be ababiri baamulemeredde n’abasuulira nnyina, Harriet Namiiro  oluvannyuma lwa mukyala we okunoba.

Wabula ate ne nnyina gwe yatwalidde abaana yatandise dda okukukkuluma ng’agamba nga bw’atamuwa ssente za kulabirira bazzukulu be nga n’okumufuna ataayizamutaayize.

Kino kiddiridde kkamera zaffe okukwasa loodi ono ng’atembeeya ebibajje by’akola mu mabanda n’abitambuza mu bifo eby’enjawulo okufuna ssente.

Wabula bwe twamubuuzizzaako ku nsonga eno n’atwebalama nga n’essimu tagikwata.

Bwe twagenzeeko ewa nnyina, Namiiro abeera e Kyebando mu Katale Zooni, yabuzeeko katono okukaaba nga naye tamanyi kyatuuka ku mutabani we kuba okuggyako ettutumu lye yafuna mu kalango, talaba kirala nnyumba yaabwe kye yafunamu kuba taggwa kukaaba ssente.

alt=''

 

Namiiro agamba nti, Bosco kataala okuva lwe yamusuulira abazzukulu emyezi mukaaga emabega, yeebulankanya ng’era buli lw’amutaayiza n’amufuna amukaabira kimu talina bulungi ssente ng’era eyamuwa amagezi atunde ebibajje kuba yali mubazzi mulungi.

“ Ekisinga okunnuma kwe kuyita mu kkubo abantu ne bantenda okubeera ne ssente kyokka nga mutabani ankaabira bwavu bwereere”.

Namiro mubwe yagambye. Bwe yabuuziddwa oba mutabani we ssente yazifuna n’azimalira mu bakyala, yabuuzizza mu nnaku ey’ekitalo nti, “Mukamwana yandinobye ssinga abadde aziwa bakyala?.

Siraje Kasirye yeegulira erinnya lya Bosco Kataala (nga bw’afaanana mu katono) oluvannyuma lw’okukola akalango ka MTN Momo ne kakwatayo ng’avuga eggaali ku madaala ga supamaketi.

Oluvannyuma lw’okufuuka ssereebu, abadde atera okutwalibwa mu bifo eby’enjawulo okusanyusa abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana