TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Omuduumizi w’amagye ga Algeria azze yeefuuulidde Pulezidenti

Omuduumizi w’amagye ga Algeria azze yeefuuulidde Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2019

OMUDUUMIZI w’amagye mu Algeria yeefuulidde Pulezidenti wa Algeria, Abdelaziz Bouteflika 82 nti kye kiseera aggyibwe mu ntebe kubanga mukadde nnyo ne by’akola takyabitegeera.

Aboutrika 703x422

Abdelaziz Bout nga bamuvuga mu kagaali.

Gen. Ahmed Gaid Salah agamba nti Abdelaziz Bouteflika eyaakafugira emyaka 20 yeetaaga kulangirira nti takyasobola kukulembera ggwanga kubanga ebigenda mu maaso takyabitegeera awunzeemu.

Abdelaziz Bouteflika abadde ateekateeka kuddamu kwesimbawo ku kisanja ekyokutaano kyokka embeera ey’obulamu bwe si nnungi okuva mu 2013 lwe yalumbibwa obulwadde obwamusannyalazaako oludda.

Eby’amagye bizze wayise omwezi n’okusoba nga bannansi beekalakaasa olw’omukulu oyo okubalemerako ate bwe baasuubidde nti ku luno agenze ate n’alangirira okwesimbawo obuto.

Ekisinga okumuvunaanibwa bwe bulyake obujjudde mu Gavumenti ye n’okukwata ebintu mu ngeri etakyategeerekeka ekivaako bannansi okugamba nti ku myaka gye, yandibadde awummudde naye takirina mu birowoozo bye.

Amawulire ga CNN ne BBC gagamba nti amagye okutuuka ku kino, gaamaze kulaba nga ly’ekkubo lyokka eriyinza okutuusa eggwanga eryo ku mirembe nga bakyusa obukulembeze okusobola okukkakkanya obutabanguko n’okwekalakaasa okubalemeredde okukkakkanya ng’abantu tebakyakola okuggyako okukola byonna ebisobola omukulu oyo okuva mu ntebe.

Munnamagye oyo, Gen. Ahmed Gaid Salah yagenze ku ttivvi emanyiddwa nga Ennahar n’ajjukiza bannansi nti, Konsitityusoni tekkiriza mukulembeze atakyamanyi bigenda mu maaso ku nsi olw’endwadde oba emyaka (ng’awunze) okusigala mu ntebe.

Gen. Ahmed agamba nti wadde okwekalakaasa kwa mirembe, kugenda kuleetera abataagala ggwanga lya Algeria okulisensera nga bakozesa bannabyabufuzi abawakanya Pulezidenti aliko nga kye kiseera y’eggyeko yekka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam