TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ISO ekutte abalala 2 abaatema omugagga wa Romi Wine

ISO ekutte abalala 2 abaatema omugagga wa Romi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 31st March 2019

BAMBEGA b’ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO bakutte abasajja abalala babiri abagambibwa okuyingirira omugagga wa Romi Wine, Robert Migadde mu maka ge e Kyengera – Kazinga ne bamutemaatema.

Capture 703x422

Abaakwatiddwa kuliko; Geoffrey Abarigye ne Isaac Ssentamu ku bigambibwa nti nga February 18 , omwaka guno baayingirira omugagga Migadde ne bamutemaatema ne bamuleka ng’ataawa.

Ennumba gye baamulumbamu, agamba nti yali ya kikugu nnyo nga teyasobola wadde okweyambisa emmundu ye okwerwanako.

Abarigye ne Ssentamu, ISO yabakwatidde mu Kampala oluvannyuma lw’okutemezebwako abakessi baayo.

Okusinziira ku nsonda mu ISO, Abarigye ne Ssentamu bakkirizza okuyingirira Migadde ne bamutema nga bamwagalako ssente n’ebintu ebirala ebikalu.

Ababiri bano, bakuumirwa mu kaduukulu ka ISO mwekuumira abasibe baayo mu Kampala ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, okusinziira ku bye baakakung’aanya ku basajja bano, be baatema Migadde era bwe banaaba bamaze okunoonyereza bajja kubakwasa poliisi ebatwale mu kkooti.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, baakakwata abantu basatu abali mu kaduukulu k’ekitongole kyabwe ekikola okunoonyereza ku misango eminene ekya Special Investigations Division (SID) e Kireka.

Yagasseeko nti, waliwo abalala babiri be bakyanoonya abaali mu bulumbaganyi buno era we babakwatira, fayiro yaabwe ejja kusindikibwa ew’omuwaabiwa wa Gavumenti batwalibwe mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.