TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Magara eyatta abantu ku Bulange ayimbuddwa n’akuba embaga

Magara eyatta abantu ku Bulange ayimbuddwa n’akuba embaga

By Musasi wa Bukedde

Added 31st March 2019

OMUSIRIKALE Ramadhan Magara 59, eyakuba abawagizi ba Dr. Kizza Besigye amasasi ku Bulange ayimbuddwa oluvannyuma lw’emyaka 12, n’akuba mukazi we embaga ogwokubiri ng’amusiima olw’obugumiikiriza.

Kuba 703x422

Magara nga bw'afaanana kati

Petride Mudoola

Magara eyali omusirikale mu ofi isi y’omubaka wa Pulezidenti e Lubaga yakuba mu bawagizi ba Besigye amasasi agatta Vincent Kavuma ne Gideon Makabayi awamu n’okulumya Haruna Byamukama.

Mu kiseera ekyo Besigye eyali avuganya ku bwapulezidenti ku tiketi ya FDC yali agenda kukyala ku Bulange.

Nga June 24, 2009 Magara yasimbibwa mu kkooti n’avunaanibwa omusango gw’obutemu n’ogwokugezaako okutemula.

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Wilson Mwesigwa yamusiba emyaka 14 olw’okutta abantu mu butali bugenderevu.

Omusango gw’okutta abantu mu butali bugenderevu yaweebwa ekibonerezo kya myaka musanvu ate n’okugezaako okutta n’aweebwa emyaka musanvu.

Ebibonerezo byombi yalina kubikola nga byeyawudde nga gye myaka 14.

Magara eyasangiddwa mu maka ge e Wakiso ng’ali mu lukiiko oluteekateeka embaga ye ne mukyalawe, Hadija Nakintu yalaze essanyu olw’okuba nga yasobodde okuva mu kkomera ng’akyali mulamu.

Yagambye nti wadde ng’abalamuzi baali bamusibye emyaka 14, kyokka olw’okweyisa obulungi ekibonerezo baakikendeezezza okutuuka ku myaka 12.

“We bansibira nnali mmanyiddwa ng’omuzzi w’emisango, kyokka wenviiridde mu kkomera nda ndi wa njawulo nnyo era neeyisa mu ngeri ya buvunaanyizibwa,” bwe yategeezezza.

Magara eyabadde omusanyufu yagambye nti we baamusibira yalina abaana munaana ng’asembayo wa myezi ena gyokka.

“Simanyi ngeri gye nyinza kutendera mukazi wange kuba ambeereddewo nnyo. Bwe nnali omuyala yanfunira ekyokulya, n’aleeta eky’okunywa, bwe nalwala yanzijanjaba ne bwe nnali mu kkomera yajja nanambula,” Magara bwe yayogedde ku mukazi we.

Obutafaanana ng’abakazi abalekawo abaana ne bafumbirwa nga babbaabwe basibiddwa, ye Nakintu yagumira ebizibu byonna n’abeerawo okutuusa lwe yamusanze n’agattako nti; “Engeri yokka gye nsobola okumusasulamu kwe kuddamu okumuwasa”.

Gye buvuddeko Nakintu yaddamu n’ayanjula Magara mu bazadde be era mu kiseera kino bateekateeka kuddamu kukola mbaga.

MAGARA YEETONDEDDE EGGWANGA EBYALIWO

Magara agamba nti olunaku lwa February 15, 2006 lwakya ng’olulala nga tamanyi nti okuvuga emmotoka okutimbiddwa ebifaananyi bya Pulezidenti Museveni n’okuliraana abawagizi ba Besigye kyali kisobola okumuleetera obuzibu.

Ku lunaku olwo, mukamaawe eyali omubaka wa Pulezidenti e Lubaga, Fred Bamwine yamulagira okumukima e Lugogo awaali omukolo ogwaliko Pulezidenti.

Yasooka kusalawo kuyitira ku luguudo lw’e Namirembe asobole okugwa ewa Bakuli, kyokka n’asanga mu kkubo nga mulimu emmotoka gye bakumyeko omuliro.

Yawalirizibwa okuyitira ku Bulange asobole okugwa ku luguudo lwa Kabaka Njagala asobole okutuuka e Lugogo mu bwangu.

Kyokka aba akyuka mu kkubo n’agwa ku bbiina ly’abantu eryali lisibye oluguudo era n’awalirizibwa okuva mu mmotoka.

Abantu abali bakutte akadomola k’ateebereza okubeeramu peetulooli baamutiisatiisa nga bwe baali bagenda okwokya emmotoka ye era amangu ago ne batandika okugikasukira amayinja agaagiyiwa endabirwamu.

“Kituufu nakuba amasasi mu bbanga era sijjukira nti nti ge gaakuba abawagizi ba Besigye kuba abasirikale bangi okwali poliisi ekuuma Besigye, abakuuma Bulange n’abebitongole ebikuuma ddembe. Kyokka mu byonna neetondera eggwanga kuba nze naviirako okufa kw’abantu,” Magara bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.