TOP

Famire ya Ssebulime eyagala Gav't egiriyirire obuwumbi 9 n’obukadde 949!

By peter ssaava

Added 31st March 2019

FAMIRE y’omugenzi Ssebulime eyattiddwa poliisi oluvannyuma lwa Minisita Idah Erios Nantaba okumwekengera, bawadde Gavumenti nsalessale wa nnaku ttaano okubaliyirira obuwumbi 9 n’obukadde 949 oba ssi ekyo ensonga baakuzongerayo mu kkooti.

Kuba 703x422

Bamulekwa ba Ssebulime mu maka ga kitaabwe.

Nga bayita mu bannamateeka aba kkampuni ya Muwada & Co Advocates, aba famire baagala ku buwumbi omwenda n’obukadde 949 Gavumenti egatteko okusasula ssente Ssebulime ze yalina we baamuttidde n’amasasi nga yabadde azitwala okusasula fiizi z’abaana be abasomera ku St. Andrew Kaggwa Secondary School Kabimbiri, n’okuzza ebintu byonna bye byonna bye yalina omuli essimu, ensawo, ekikooti n’ebyokulya by’abaana be n’ebirala era baagala poliisi ebawe n’ebbulawa y’omusawo eyakebedde omulambo gwa Ssebulime.

Ssebulime 39, yakubibwa amasasi ku Ssande ewedde mu bitundu by’e Nagojje nga kigambibwa nti yali alondoola Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya Idah Nantaba n’ekigendererwa eky’okumutta.

Aba famire abaasangiddwa mu maka g’omugenzi e Nakabugo mu Wakiso nga bali ne munnamateeka Nkunnyingi Muwada baategezezza nti, omuntu waabwe ofiisa wa poliisi Cpl. Ssali yamuttira bwemage, ne bategeeza nti, ssente ze baasabye ssi ze zigenda okuzza obulamu bwa Ssebulime kyokka omugenzi abadde n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi nga baagala obusente obwo bubayambeko okuziba ekituli omugenzi ky’alese.

Bino biddiridde poliisi okwetonda nti, Ssebuline baamuttidde mu nsobi era n’abaserikale baayo basatu okuli Edward Ssali eyamukuba ebyasi ng’ali ku mpingu, baakwatiddwa ng’ekiseera kyonna bagenda kuggulwako omusango ogw’obutemu n’okweyisa mu ngeri eweebuula ekitiibwa kya poliisi.

Munnamateeka Nkunnyingi Muwada yafulumizza ekiwandiiko ku Lwokutaano ekiraalika okukuba Gavumenti mu mbuga z’amateeka singa tevaayo kutwala baserikale baayo okuli ne Minisita Nantaba mu kkooti nti bano be baavaako embeera omwafiira Ssebulime.

Nga Muwada tannasisinkana ba famire, yasoose ku ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti, William Byaruhanga ku Lwokutaano n’awaayo ekiwandiiko ekiraalika okutwala Gavumenti mu kkooti singa aba famile ye tebasasulwa ssente ezo mu nnaku ttaano era ekiwandiiko ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti, bakkirizza okukifuna ne bassaako ne sitampu.

Muwada yategeezezza nti Ssebulime yatemulwa mu bukambwe nga tewali na kunoonyereza kukoleddwa ate omuserikale Cpl. Edward Ssali n’atandika okwewaana nti, asaana kusiimibwa lw’okutta abatemu abatta abakungu ba Gavumenti.

Bongerako nti n’ebigambo Minisita Nantaba bye yafulumizza bitadde famire mu kunyolwa kuba ono ye yavaako omuntu waabwe okufa bwe yawa abaserikale amawulire amafu nti waliwo eyali amulondoola okumutta.

Wano we baaviriddeyo ne basaba Gavumenti ekole ekisoboka okulaba ng’eyamba abooluganda lw’omugenzi oba ssi ekyo bakugenda mu kkooti esale amazima.

BAWADDE OBUKWAKKULIZO MUKAAGA

1 Okuvunaana abaserikale baayo okuli Edward Ssali, Ronald Opira, Ronald Baganza ne Edward Cherotich (ono yadduse) okulaba nga batwalibwa mu kkooti bawozesebwe omusango gw’obutemu.

2 Gavumenti etwale Minisita Nantaba mu ddwaaliro akeberebwe omutwe okuzuula oba ebintu by’abadde ayogera ku Ssebulime yabikola akigenderedde.

3 Gavumenti baliyirire famire ye ssente 9,949,000,000 olw’okutta omuntu waabwe mu bukyamu ate ne batavaayo kwetondera, okuziika n’okubakubagiza.

4 Okubaddiza ebintu by’omugenzi omuli pikipiki ekika kya Suzuki, ssente ze yalina ng’agenda ku ssomero omwali ne fiizi z’abaana, essimu n’ebirala bingi bye yali atambudde nabyo.

5 Poliisi ebalage lipoota y’omusawo ku nfa y’omugenzi. 6 Kkampuni ya Muwada & Co Advocates nayo esasulwe ssente 19,000,000/- ze bakozesezza ku kunoonyereza ku musango guno okuva Ssebulime lwe yattibwa.

Baategezezza mu kiwandiiko nti, singa bino tebikolebwa mu nnaku ttaano (ziggwaako ku Lwokusatu) bagenda kutwala omusango guno mu kkooti ya wano n’ezeebweru w’eggwanga okulaba ng’obwenkanya bubaawo.

Ebbaluwa eno yaweererezeddwaako ne ofiiisi y’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita ne ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission akakulirwa Med Kaggwa.

ACHOLA AKONKOMAZZA FAMIRE

Nga tebannaba kufulumya kiwandiiko kirabula Gavumenti, ku Lwokuna omuserikale wa poliisi Anatoli Mureterwa yakyaliddeko aba famire okubagumya olw’okufa kwa Ssebulime.

Famire yategeezezza nti yabawadde amabugo ga 50,000/- n’abategeeza nti, zivudde mu nsawo ye ng’omuntu n’abasuubiza okubatwalira ebijanjaalo okubayamba okuliisa abakungubazi ababakyalira mu kiseera kino eky’okusoomoozebwa.

Ku Lwokutaano ku makya era baafunye okusoomoozebwa bwe baabategeezezza nti omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola agenda kubakyalirako wabula baakanze kulinda nga buteerere.

Mu kusooka kyaasoose kutegezebwa nti ono yasoose kubayita ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu ofiisi ye wabula n’akyusa enteekateeka eno n’asalawo agende e Nakabugo mu maka g’omugenzi ne kimulema okutuukiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente