TOP

Abayizi abasoma ebyobulimi baweereddwa ebbaluwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

Abayizi abasoma ebyobulimi baweereddwa ebbaluwa

Neb2 703x422

Abamu ku bayizi 75 abaafunye ebbaluwa oluvannyuma lw’okusoma eby’obulimi n’obulunzi nga bali n’abasomesa ne bazadde baabwe.

ABAYIZI 75 bafunye satifikeeti mu ttendekero ly’ebyobuimi n’obulunzi mu Makerere mu Yuniasite ezibakakasa nti bafunye obukugu mu masomo gano. Ku bano kwabaddeko abawala munaana nga batendekeddwa mu ttendekero lya African Institute for strategic animal resource services and development (AFRISA ) mu yunivasite e Makerere.

Satifikeeti zino zaabakwasiddwa Dr. John David Kabasa nga y’akulira ettendekero lino agamba nti, amasomo gano gonna gagenderera kukendeeza bbula lya mirimu mu ggwanga.

Mu bano mulimi asomye ebyobulimi mu birime eby’enjawulo, okulunda ente, ebyennyanja, enjuki mu nkola ey’omulembe egifuula bizinensi n’osobola okwegobako obwavu.

Dr. Micheal Kansiime akulira pulogulaamu ezikolebwa ku ttendekero lino agamba nti, abayizi abaafunye ebbaluwa zino baasooka kusoma mu matendekero amalala ne bamaliriza ng’abamu baatikkirwa diguli n’abalala nga balina dipulooma ne satifikeeti mu masomo ag’enjawulo. “Tetusosola nga tusomesa abantu abakulu n’abato.

Ate omuyizi akyayinza okutandikira ku satifikeeti mu ttendekero lino n’agenda ng’ayongerako ne bamutikkira diguli mu byobulimi. “ Dr. Kansiime bw’agamba. Agamba nti, tubasomesa okutandikira ku myezi esatu mu satifikeeti ne diguli eri mu myaka ebbiri.

Ritah Asasira omu ku bayizi abaafunye ebbaluwa, yagambye nti, “namaliriza okusoma era ne nfuna omulimu kyokka nga ndaba ssente ze bansasula ntono ddala. Nasalawo okuddayo okusoma mu ttendekero lino nga nakuguka mu kulunda ebyennyanja n’okulabirira enjuki nga muno nfunyeemu ssente eziwerako.” Ayongerako nti, abayizi abalala bangi tebalina mirimu nga baginoonyezza negibula basobola okusoma eby’obulimi ne beegobako obwavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.