TOP

Ekivaako okukyusa abasomesa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

Ekivaako okukyusa abasomesa

Top2 703x422

EMU ku nkola ya minisitule y’ebyenjigiriza gyekozesa okulaba ng’esitula omutindo gw’ebyenjigiriza n’okugukuuma ya kukyusa basomesa. Kino kikolebwa buli mwaka wabula waliwo abagezaako okukiwakanya.

GYE BAKYUSIZZA ABASOMESA Mu disitulikiti y’e Jinja ku ssomero lya Spire Road Primary School bagyeyo abasomesa 10 era embeera teyabadde nyangu. Abazadde baatuuse n’okuwandiikira minisita w’ebyenjigiriza ebisokerwako Rosemary Sseninde ebbaluwa nga bamusaba ayimirizze enteekateeka eno.

Baamutegeezezza nga bwe batali bamativu n’engeri avunaanyizibwa ku byenjingiriza Amina Mutesi ne Town Clerk Jofram Waidhuba gye baakyusizza abasomesa baabwe.

Ronald Namirengo eyasomerako ku ssomero lino ate nga muzadde agamba nti abasomesa abaakyusiddwa mulimu aba P7 okuli; Godfrey Muyima musomesa w’Okubala ne Samuel Mukisa wa SST, Immaculate Kayanga musomesa wa Lungereza ne Paul Kaswaigo wa kubala.

Abalala abaakyusiddwa kuliko; Grace Musooko w’Okubala mu P6, Barbra Mukungu abadde asomesa SST mu P5, Isaac Bizibu omusomesa wa Science mu P6, Sarah Kaudha omusomesa w’olungereza mu P3 ne Ruth Nakato abadde asomesa olungereza mu P1.

MINISITA ATANGAAZIZZA Minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Sseninde yagambye nti abasomesa okubakyusa tekirina buzibu. Omukozi wa gavumenti yenna alina okukyusibwa naweereza mu bitundu eby’enjawulo.

Enkola ya Gavumenti eri nti omusomesa ku ddala lya pulayimale yandibadde kussomero obutasukka myaka musanvu. Omusomesa okulwa ku ssomero oluusi addirira mu kuweereza ne kizza ebyenjigiriza emabega Asaba abazadde baleme kukitwala bubi ekyokukyusa abasomesa kubanga byonna bikolebwa ku lwobulungi mu byenjigiriza.

EKIVAAKO OKUKYUSA ANASOMESA Amina Mutesi akola nga principal education officer mu disitulikiti y’e Jinja yagambye nti okukyusa abasomesa sikubabonereza wabula ye nkola ya minisitule.

Yatangaazizza nti abasomesa nga baweebwa emirimu baliko foomu ze bajjuza okuli n’okukkiriza okuweereza mu bitundu byeggwanga eby’enjawulo ekiseera kyonna. Bakyusibwa nga waliwo obwetaavu.

Oluusi abasomesa babeera tebamala mu bitundu ebimu ate nga waliwo abalina abangi ate nga balina obukugu mu nkola y’emirimu. Kale batwalibwa awali obwetaavu. Ate n’abo abatali balungi basobola okukyusibwa oluvannyuma lw’okulemwa okukola ebyo ebibasubirwamu.

Ku ddala lya pulayimale omusomesa asobola okusomesa amasomo gonna. Noolwekyo ekikulu tekiri ku muwendo gwa basomesa bakyusiddwa ,wabula essira lyanditeekeddwa ku kufuba okulaba nti abakyusiddwa basikiziddwa abasomesa abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.