TOP

Njagala baagala abbulwemu oluguudo

By Moses Lemisa

Added 1st April 2019

Obulwadde bwa taata twabutegeera nga September 23, 2017 bwe twamutwala mu ddwaaliro ne bamukuba ebifaananyi abasawo ne batugamba nti alina kkookolo w’amagumba wabula yali yamusensera dda nga tamanyi. Kitaffe tafudde ddogo obulwadde obumusse tubumanyi era tumujjanjabye ng’abaana.

Abaanabomugenzingabateekakoekimulinew 703x422

Bamulekwa nga bateeka ekimuli ku ssanduuko y'omugenzi.

ABAKULEMBEZE ba LC omugenzi Njagala gy’abeera baagala bamubbulemu olugguudo okumusiima ebirungi by’akoledde Kawempe n’ekitundu kyabwe.

Godfrey Njagala Lugaya 74, yafudde ku Lwamukaaga oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa ekirwadde kya kkookolo.

Ku Ssande  baamusabidde  mu maka ge agasangibwa e Komamboga mu Central zooni mu minisipaali y’e Kawempe okwakulembeddwaamu, Rev. John Kiyingi ow’obusumba bw’e Mpereerwe  eyatenderezza   omugenzi  nti afudde ayagala Katonda ng’ate abadde  mumalirivu  mu buli ky’abadde akola.

Okusaba kwetabiddwaako abantu bangi okwabadde ne Latif Ssebaggala omubaka wa Kawempe North.

Noah Mukasa ssentebe w’e Komamboga nga y’omu ku bammemba mu  kibiina kya Fathers Union mu busumba bw’e Mpereerwe  yategeezezza nti omugenzi abadde mpagi nnene nnyo ku kyalo ne Kawempe  ng’okusiima emirimu  gye  bagenda   kusaba  KCCA emubbulemu ekkubo eriva ku Waliggo Road okugenda mu maka ge kuba ye yalirimisa.

Okusaba kwetabiddwaako bannabyabufuzi, bannaddiini okwabadde Rev.  James Nsubuga ow’obusumba bw'e Kasubi, Rev. Nafutali Kabanda, Rev. Kyambadde, Emmanuel Sserunjogi meeya w’e Kawempe  n’abalala.

Omugenzi waakuziikibwa ku Lwokubiri  e Masaka ku kyalo Busenze ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.

TAANA TALINA  NTAANA YA MWANA WE GY’ATUNUDDEMU FFE TUMUZIISE - ABAANA

Rev Justus Miwanda mutabani w’omugenzi omukulu: Taata  afudde tatunuddeko mu ntaana ya mwana we yatuzaala 9  ffenna wetuli mu bulamu obweyagaza kuba yatusomesa era buli omu yazimba amaka ge.

Ku Lwokutaano  twakungaana ku makya ne tusabira muzeeyi ng’era tulaba yeeyongera kuba bubi.  Ku Lwomukaaga  lwe yafuvaako.

Obulwadde bwa taata twabutegeera  nga September 23, 2017  bwe twamutwala mu ddwaaliro ne bamukuba ebifaananyi abasawo ne batugamba nti alina kkookolo w’amagumba wabula yali yamusensera dda nga tamanyi.

Kitaffe tafudde ddogo obulwadde obumusse tubumanyi era tumujjanjabye ng’abaana.

NAMWANDU

Miriam Kukirizza Njagala: Twafumbiriganwa ne Njagala mu 1971 n’okutuusa kati abadde anjagala ng’eyakandaba.

Obulwadde nga butandise okumuluma ate yasaasiranga nze kuba ndi mulwadde wa puleesa ne sukaali.

Ekisinga okwewuunyisa baze namusooka okulokoka naye abadde ansinga okubuulira enjiri.  Yafudde wendi ne munywegera nga musiibula, Mukama amuwummuze mirembe.              

EYASOOKA OKUWA OMUGENZI OMULIMU  GW’OBUKULU BW’ESSOMERO LYA MAKERERE HIGH AYOGEDDE

Joseph Kisubika Tusuubira 79 ow’e Kasokoso Mukono: Njagala  kojja wange nasisinkana naye e Namutamba mu ttendekero ly’abasomesa mu 1968  nga muyizi nga nze ndi musomesa, waliwo essomero  ly’Abayindi mu 1976  nalifuula Makerere High ne nfuna Edward Muhire ng’ono yafiira mu kabenje k’ennyonyi e Roma bwe yali ava London mu 1988.

Kyampalirizza okunoonya Njagala ne muwa omulimu n’abeera omukulu w’essomero okumala emyaka 15 ne ndisengula ne nditeeka  e Migadde ku lw’e Bombo .

Njagala mu kiseera we yabeerera omukulu w’essomero abayizi baayitiranga waggulu nga balina empisa ng’era ku mulembe gwaffe abayizi tebeekalakaasaako.

Njagala abadde mumalirivu mu buli ky’abadde akola,   abadde ku bukiiko bw’amasomero mangi mu ggwanga wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu

Employed 220x290

Akwana abawala n'ababba poliisi...

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bbaala n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu n’akwana abawala n’ababbako ebintu byabwe....

Sit51 220x290

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja...

UCU ne KIU balwana kuva mu kibinja kya University League

Kubayo 220x290

‘Bobi teyeewandiisanga kuvuganya...

WADDE ng’akakiiko k’ebyokulonda ke kakkiriza omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okwebuuza...