TOP

Eddy Kenzo olweza lwe baamunaaza lwanoga

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

Eddy Kenzo olweza lwe baamunaaza lwanoga

Web2 703x422

OMUYIMBI Eddy Kenzo nga yaakalinnya ennyonyi okugenda mu Bungereza okukuba omuziki, aliko ddiiru endala gy’afunye okuva ew’omuyimbi Omumerika Chris Brown ng’era bw’agikkiriza agenda kukwata omusimbi oguwerera ddala.

Okusinziira ku bbaluwa bamaneja ba Chris Brown gye baawaandiikidde Eddy Kenzo, baamutegeezezza ng’omuyimbi waabwe bw’alina oluyimba olupya lwe yatuumye ‘‘Back To Love’’ ng’ayagala kuteekamu ekitundu ky’amazina agali mu vidiyo ye emu.

Wadde Kenzo yagaanyi okwogera erinnya lya vidiyo ng’agamba kyama kye ne Chris Brown, omu ku bamuli ku lusegere yatugambye nti bagiyita ‘Ogwo’ gye yakola ne Wembly Foundation.

Mu bbaluwa eno baamugambye nti bw’aba akkirizza abaddemu basobole okuteeka emikono ku ndagaano n’okumaliriza emisoso gyonna egyetaagisa omuli n’eby’ensasula. Ddiiru eno ecamudde Kenzo n’atandika okuttottola akawanvu n’akagga ku gyenvudde we nga bwe yeetondera abantu bamusonyiwe okumujjukiza ebyayita naye essanyu ly’alina lya mwoki wa gonja.

‘‘Nakulira mu kitundu ky’abankuseere ng’ate famire yaffe yeesingamu obwavu naye kati ndya na Balangira. Bwe nali ntandika okuyimba abantu bannumbanga nga bampita muzinyi naye kati abayimbi ab’ebweru na wano baagala kukola nange ennyimba’’.

Kenzo y’omu ku bayimbi abasinga okufuna ddiiru z’okuyimbira ebweru w’eggwanga ng’ate asasulwa buwanana era oluyimba lwe olwa ‘Sitya Loss’ lwamenya likodi y’okuba nti lwe lumu ku lukyasinze okusaasaana n’okulabibwa ku mikutu gya yintanenti era n’okutuusa kati akyalulyamu omusimbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.