TOP

Ssente zitabudde abasuubuzi b'ente

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2019

Abasuubuzi abaavudde e Mbarara, Lyantonde, Ssembabule ne Mutukula nga bakulembeddwaamu Frank Tugume, Julius Kafuuzi, Peter Kabangala obwedda balumiriza Barnabas Lugyendo avunaanyizibwa ku bisolo nti buli mmotoka agiggyako wakati wa 5,000/- ne 10,000/- okugikkiriza okuyingira mu Kampala.

Webnte1 703x422

Abasuubuzi nga baliko bye bannyonnyola ofiisa wa poliisi Tukundane e Lukaya

ENTAMBULA yasannyaladde e Lukaya ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala, abasuubuzi b’ente bwe baavudde mu mbeera ne bakiika loole zaabwe mu kkubo nga bawakanya okuggyibwako ssente nga tebasoose kunnyonnyolwa kye zigenda kukola.

Abasuubuzi abaavudde e Mbarara, Lyantonde, Ssembabule ne Mutukula nga bakulembeddwaamu Frank Tugume, Julius Kafuuzi, Peter Kabangala obwedda balumiriza Barnabas Lugyendo avunaanyizibwa ku bisolo nti buli mmotoka agiggyako wakati wa 5,000/- ne 10,000/- okugikkiriza okuyingira mu Kampala.

Akulira poliisi y’e Kalungu Abrahams Tukundane n’akulira ey’ebidduka Victor Tumwebaze baasanze akaseera akazibu okukkakkanya abasuubuzi n’okubamatiza okuggya emmotoka zaabwe mu luguudo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...