TOP

Bobi Wine akyadde gye baasibira Mandela

By Martin Ndijjo

Added 2nd April 2019

Bannayuganda e South Africa balaze Bobi omukwano nga bakulembeddwamu Medie Moore bamututte okulambula ekkomera gye baasibira Nelson Mandela

Bo1 703x422

Bobi Wine ow'okuna ku kkono(mu bayimiridde) n'abamu ku bawagizi be ku kkomera

Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agenze mukkomera ly’oku kizinga Robben Island gye baasibira omugenzi Nelson Mandela nategeeza nti okutuuka mu kifo kino kimwongedde amaanyi n’obuvumu mu byobufuzi by’alimu.

“abalwanirizi b’eddembe nga Nelson Mandela be bamu ku bansikiriza okuyingira ebyobufuzi era kibadde kirooto kyange bulijjo okutuukako ku kizinga gye yamala emyaka 27 mu busibe.Nneeyongedde obuvumu.” Bobi Wine bwe yagambye.

 kuva ku kkono obi ine edie oore ne ubian i Okuva ku kkono: Bobi Wine, Medie Moore ne Nubian Li.
 

Ku Ssande Bobi Wine yakomekkerezza obugenyi bw’abaddeko mu South Africa gye yagenda mu kivvulu kya  ‘Kyalenga Extra’ .

Ekivvulu ekyasembyeyo kyabadde ku Goodwood Civic Hall mu kibuga Cape Town ku Ssande.

Bobi Wine okugenda ku Robben Island yakulembeddwa Medie Moore (amannya amatuufu Rogers Lyadda) omu ku Bannayuganda abakolera e South Africa era omu ku batadde ssente mu bugenyi buno.

 edie ore wakati ne tikiti ze yaguze ali ne addyman pulomota eyategese ekivvulu Medie More (wakati) ne tikiti ze yaguze ali ne Haddyman pulomota eyategese ekivvulu.

Bobi yayimbye mu bibuga okuli; Durban, Johannesburg, East London ne Cape town ng’eno Medie Moore omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu buli lwe bayingirawo mu Kampala yagulidde n’abantu tikiti z’ekivvulu era babaddeyo mu bungi okulaga Bobi Omukwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...