TOP

Akubye mukazi we omuko n’amulumba n’amutta

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2019

Akubye mukazi we omuko n’amulumba n’amutta

Lip2 703x422

Nuwagaba eyattiddwa.

OMUKAZI bwe yalabye bba asusse okumutulugunya, ensonga n’aziroopa ewa mwannyina Timothy abiyingiremu. Evelyn mu kuloopera mwannyina ensonga z’amaka, yakikoze bw’amulaga n’ebiwundu bba Stuart Nuwagaba 24, by’amutuusizzaako, ng’amukuba enkya n’eggulo.

Timothy yasunguwadde nnyo n’alumba ng’amazeeko, era ekyaddiridde kufumita mukoddomi we biso n’amutta! Timothy ne mukoddomi we Nuwagaba bombi bakozi mu kkolero lya walagi erya Brigade Walagi ne King Albert Walagi e Mabanda mu ggombolola y’e Gombe mu Wakiso era olutalo lwabwe lwatandikidde munda mu kkampuni mwe bakolera nga Timothy abuuza Nuwagaba nti, “Lwaki okuba mwannyinaze nga n’abazadde abaamuzaala tebaamukubako bwe batyo?” Nuwagaba obwedda naye amwanukula amugamba nti ensonga z’amaka gaabwe azibalekere kubanga ziri wakati w’abantu babiri era ekyaddiridde kwegwa mu malaka, wabula bakozi bannaabwe ne bafuba okubataasa.

OMUKO YATEEZE OMUSAJJA KU GGEETI N’AMUFUMITA

Jonathana Kaddedde y’omu ku bakozi abaabaddewo ng’olutalo lugenda mu maaso era yakoze siteetimenti ku poliisi y’e Matugga ng’attottola bye yalabye. Kaddedde yagambye nti bwe baamaze okubataasa, obudde bw’oku nnyuka nabwo bwabadde butuuse era Timothy ye yasoose okufuluma n’ateega ku ggeeti y’ekkolero. Mu kaseera katono ne Nuwagaba yafulumye era olutalo ne luddamu buto.

Kiteeberezebwa nti mu kugenda ku mulimu ku Ssande, Timothy yakukusizza ekiso kye yabadde akwese mu mpale ennyimpi gye yabaddde ayambalidde munda era abaabaddewo bagamba nti Timothy yalabise nga yabadde azze yeetegese bulungi.

Okwetegeka kwe kwaddiridde mwannyina Evelyn Ainomugisha eggulolimu ku Lwomukaaga okugenda ewa Timothy n’amudaagira ennaku gy’ayitamu ewa Nuwagaba ate nga ssi gwe gwabadde gusoose, ng’omukazi aloopera mwannyina ensonga z’okumukuba.

Evelyn yagasseeko n’okutegeeza mwannyina nti ekisinga okumuluma, bba asooka kunywa mwenge olwo n’alyoka akomawo awaka n’amukuba okumwogoloza, awatali nsonga yonna. Nuwagaba ne Timothy bombi babadde bapangisa Matugga era akatemerero katono okuva ku maka ga buli omu.

Timothy ye talina mukazi kyokka enfunda nyingi abadde agezaako okutabaganya mwannyina Evelyn ne Nuwagaba okulaba ng’obufumbo bwabwe obwa kawundo kakubye eddirisa bugenda mu maaso nti kyokka ku nfunda ezo zonna, Timothy abadde alabula Nuwagaba okukomya okukuba Evelyn Kaddedde yategeezezza nti olutalo bwe lwanyiinyiitidde ebweru wa ggeeti, baalabidde awo nga Timothy asikayo ekiso ng’akisogga Nuwagaba n’amuleka mu kitaba ky’omusaayi n’adduka.

Yamufumise enfunda eziwera era ekiso eky’amaanyi kyamuyuzizza olubuto, n’akiwerekeza ekiso ekirala mu kifuba n’afumitira ddala ku ludda lw’omutima. Abaabaddewo baayanguye okutaasa obulamu bwa Nuwagaba n’okugezaako okukwata Timothy wabula n’abaddukako era we bwazidibbe eggulo nga bakyamuyigga.

Ssentebe we kitundu kino John Lubwama yagambye nti abaabaddewo baayoddeyodde Nuwagaba ne bamutwala mu kalwaliro ka Jokasy Medical Centre – Matugga, kyokka n’afa nga baakamutuusaayo.

Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago. Patrick Obotolo akulira poliisi y’e Matugga eyakulembedde aba poliisi abaagenze mu kifo awaabadde ettemu yagambye nti abantu abawerako babaggyeeko siteetimenti era kati amaanyi bagatadde ku kuyigga Timothy avunaanibwe.

Bagguddewo fayiro nnamba SD REF. 03/01/04/2019 ku poliisi e Matugga era Obotolo n’asaba omuntu yenna asobola okuyambako mu kukwata Timothy, akolagane n’abapoliisi.

Daniel Sserwanga omu ku batuuze yagambye nti abakozi mu kkampuni ezo bamanyi okunywa ku walagi gwe bakola ne bava mu mbeera ne batandika okukola effujjo ku batuuze b’ekitundu.

Yeewuunyizza n’engeri omukozi gy’asobola okuyingira n’ekiso mu kkampuni n’akiyisaawo nga tayaziddwa, okukkakkana ng’akikozesezza mu butemu. Evelyn naye we bwazibidde nga tebannamanya waali nga kiteeberezebwa nti yadduse olw’okutya ebiyinza okuddirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.