TOP
  • Home
  • Agawano
  • Famire yeekubidde enduulu mu kakiiko ka Bamugemereire

Famire yeekubidde enduulu mu kakiiko ka Bamugemereire

By Benjamin Ssebaggala

Added 2nd April 2019

FAMIRE esituse ne yeekubira enduulu mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kabataase ku musuubuzi w’ettaka Ruta Ngambwa owa Prime Housing Estates Ltd, eyababbako yiika 130 e Kayunga Bugerere.

Kamulegeyangalagaebimukubiwandiikobyebaajinga 703x422

Kamulegeya ng'alaga ebimu ku biwandiiko bye baajingirira. EKIF: BENJAMIN SSEBAGGALA

Joshua Kamulegeya yeeyakulembeddemu bakitaatabe ne bagenda mu kakiiko ng’alumiriza Ruta okukolagana n’abamu ku bassengabe ne batunda ettaka okuli n’eryebiggya.

Ettaka lino lisangibwa Kayunga mu Bugerere mu bitundu eby’enjawulo. Kamulegeya yategeezezza akakiiko nti ettaka lyali lya mugenzi George William Kibalama.

Waliwo eriri ku bulooka 48 plot 8, polot 126, bulooka 56 poloti 1 eyali e Ntooke nga kwekuli ebiggya naye Ruta yamenya ennyumba eyaliwo n’agobako n’abantu.

Bulooka 48 poloti 8 baagisalako yiika 154 liriko faamu egambibwa nti ya Moses Byaruhanga omuwabuzi wa Pulezidenti kyokka bwe bagenda okukebera ettaka liri mu mannya ga Dan Bahingire.

Kamulegeya alumiriza nti ettaka lino lijja liyita mu mikono egy;enjawulo n’okujingirira ebiwandiiko basobole okukyusa obwannannyini.

Alumiriza Samuel Kibalama sentebe wa LCI e Najjeera nti yekobaana ne Ruta okujinga ebiwandiiko ebimu nga bali ne basengabe.

Kibalama mutabani w’omugenzi Sekotooleko eyali ow’oluganda ne George William Kibalama.

Ono yakwatagana ne Ruta, Solome Nakayiga, David Maluge ne bajinga ebiwandiiko ebibawa obuyinza ku ttaka lino. Ebimu ku biwandiiko by’alumiriza nti baajinga kuliko ebbaluwa eyava ewa Administrator Geral, ebiwandiiko bya kkooti ebibakkiriza okufuna ‘letters’ of Administration’.

Agamba nti ekyabewuunyisa abooluganda baakwata ebyapa n’ebiwandiiko ebirala ne babiteresa Samuel Kibalama ow’e Najeera kyokka baalabira awo ng’akozesa Keneth Lubwama eyeeyita muganda wabwe n’atunda gwe balumiriza nti tebamulinaako luganda nga bbo ab’eddira ekima.

Yagambye nti tebaakoma awo, baajinga ebbaluwa ya sentebe wa LCI e Ntooke ng’ebanjula mu kkooti ng’abooluganda lw’omugenzi abatuufu abava ku bulooka 166 ettaka okuli ebiggya kyokka bwe batuuka ewa sente w’ekyalo Yusuf Sewaya n’abegaana era yagenda okulaga ebiwandiiko nga biraga nti ebbaluwa gye baakozesa yali njinge.

Wano weyasinziira okubaggulako omusango mu kkooti ogw’okujingirira ebiwandiiko era gugend akuwulirwa mu kkooti ku Lwokutaano lwa wiiki eno.

Ruta azze awerennemba n’emisango egy’enjawulo mu kakiiko nga yasooka n’abooluganda lw’omugenzi Krespo Kizito ow’emu Buso e Gayaza abalumiriza nti yabasuubiza okubakolera ku ttaka lyabwe eriweza mayiro 3 abafunire ebiwandiiko kyokka n’abawa obukwakkulizo nti buli gw’akolerako ne litereera amusalako yiika 12.

Eggulo Harriet Namukasa yabadde mu Kakiiko ng’akannyonnyola ebyaliwo.

Emirundi egyasooka Ruta baamuleeta mu kakiiko ku nsonga z’ettaka okuva mu bitundu ebirala ne bamutuma ebiwandiiko n’atandika okwebulankanya ekyaviirako Omulamuzi Bamugemereire okuyisa ekiragiro ne bamukwata ne bamuleeta mu kakiiko ng’ava mu kaduukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana