TOP

Uganda egenda kuddamu okusima Copper e Kirembe

By Muwanga Kakooza

Added 2nd April 2019

GAVUMENTI etukkizza eby’okusima kkopa e Kilembe mu disitulikiti y’e Kasese mu kawefube w’okwongera okutumbula eby’enfuna n’okufunira abantu emirimu.

Kilembemines1 703x422

Mu ntegeka z’erina, gavumenti esuubira okukolagana ne banneekolera gyange okusitula eby’okusima kkopa n’eky’obuggagga ekirala ekya  ‘kaboloti (cobalt)’ okuva mu kirombe e Kirembe ekisangibwa mu disitulikiti y’e Kasese mu bugwankuba bwa Uganda.

Olukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande era lwasazeewo bino. Era ne lusalawo okwongera okuyigga eby’obuggagga by’omu ttaka ebirala ebiyinza okuba mu kirombe kino.

Baminisita bakkirizza gavumenti okufuna omugagga okussa ensimbi mu kirombe kino eggwanga lisobole okufunamu omugaso.

Olukiiko lwakkirizza entegeka za gavumenti ez’okuzimbira abanoonyi b’obubudamu 1,780 enju e Kyangwali mu bugwanjuba bwa Uganda.

Era lwakakasizza nti olunaku lw’abakozi lwakukuzibwa e  Patongo  Akwee  Primary School  playground  mu disitulikiti y’e  Agago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.