TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA ewadde bannannyini bizimbe n'ettaka nsalessale

KCCA ewadde bannannyini bizimbe n'ettaka nsalessale

By Muwanga Kakooza

Added 2nd April 2019

KCCA ewadde bannyini bizimbe n’ettaka abalemeddwa okusasula busuulu nsalessale wa nnaku 14 okukikola oba ssi ekyo babifiirwe.

Oiddktwv400400 703x422

Omwogezi wa KCCA Peter Kauju

KCCA yalabudde nti  bannannyini bizimbe abawera 1,844 be boolekedde  okubifiirwa singa balemererwa okusasula busuulu akununkiriza mu buwumbi kkumi.

Bannannyini bizimbe ebitawa busuulu KCCA  yabanokoddeyo n’egamba nti mulimu amakampuni ga gavumenti, ag’obwannannyini, bannadiini n’abalala ng’abamu bamaze mwaka mulamba nga tebamusasula.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju,  yagambye nti bwe banaalemwa okusasula busuulu ng’ekitongole kitandika okubaga entegeka z’okubaggyako liizi.

Busuulu ono abalina ettaka lya liizi be balina okumuwa buli mwaka.

Yagambye nti bano baawebwa olukiiko lwa KCCA olugaba ettaka kyokka baawebwa nsalessale wa nnaku 14 bannyonnyole lwaki ettaka teribaggyibwako olw’okulemwa okutuukiriza endagaano.

Abasinga ku bano bali mu munisipaali z’e Nakawa, Makindye ne Kampala Central.

Kyokka abamu ku babadde basongeddwamu ennwe ng’aba NSSF olw’obutasasula babyegaanyi ne bagamba nti ebizimbe ebyogerwaako n’ettaka byatundibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...