TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sijja kwegaana yunifoomu ya poliisi ngiyiiyizaamu bulamu - Musibe

Sijja kwegaana yunifoomu ya poliisi ngiyiiyizaamu bulamu - Musibe

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2019

Sijja kwegaana yunifoomu ya poliisi ngiyiiyizaamu bulamu - Musibe

Web2 703x422

OMUSAJJA eyeefudde owa poliisi n’abba bodaboda akwatiddwa abatuuze ne bamulumiriza nti aludde nga yeefuula owa Poliisi n’akola ebikwekweto. Godfrey Ssekayiri yakwatiddwa ku Lwomukaaga ekiro mu kikwekweto ekyakoleddwa Poliisi n’amagye ku Kaleerwe. Akulira poliisi y’oku Kaleerwe, Twair Kasembeza ye yakulidde ekikwekkweto kino Ssekayiri mwe yakwatiddwa lubona ng’ali mu byambalo bya poliisi alina owa bodaboda gw’akutte ng’amuvunaana okutika akabindo ka bantu basatu.

Ono engeri gye yabadde akolamu emirimu gye abaserikale abaabadde balawuna baamwekengedde ne bamukwata . Ssekayiri ku yunifoomu yateekako linnya lye ne nnamba enjingirire 00668 okusobola okukakasa abantu nti wapoliisi. Mu kwewozaako yategeezezza nti yali “Guide” wa takisi e Wandegeya bwe yalaba ssente ntono n’asalawo okubba yunifoomu n’engato okulaba ng’afuna ssente. “Okwegaana tekulina makulu yunifoomu n’engatto nabba bibbe okulaba nga nyimirizaawo obulamu.

Naye bye bagamba nti nziba pikipiki si bituufu, nze nkwata battisse bubindo ne mbaggyamu ssente kale lwakuba abamu badduka pikipiki ne bazireka,’ Ssekayiri bwe yategeezezza. Juliet Nantege omu ku basuubuzi ewa Mambule yategeezezza nti Ssekayiri bulijjo bamulaba mu yunifoomu ya poliisi ng’oluusi atambulira ku pikipiki ne muserikale munne nga b bamanyi wapoliisi mutuufu.

Yagasseeko nti waliwo lw’abeera n’abavubuka abali mu ngoye eza bulijjo nga bagenda bakwata abantu abatambula ekiro wabula tebabatuusa ku poliisi babaggyamu ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...