TOP

Mwekebeze nga temunejjanjaba - Dr.Atwine

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd April 2019

Mwekebeze nga temunejjanjaba - Dr.Atwine

OMUWANDIISI ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine akubirizza abantu okusooka okwekebeza endwadde ezibaluma nga tebannaba kumira ddagala lyonna.

Atwine okwogera bino yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire olwatuuziddwa ku Lourdel Towers e Wandegeya mu Kampala n’ategeeza nti Bannayuganda abasinga bettanidde enkola y’okwejjanjaba nga tebasoose kwekebeza kumanya kituufu kibaluma okukkakkana nga mu kifo ky’okuwona endwadde ate nga bazikonya bukonya.

Ayongeddeko nti bbo nga minisitule bali mu kaweefube okukakasa nti enkola eno ey’okwekebeza endwadde eziruma abantu nga tebannaba kwejjanjaba eteekebwa mu nkola okusobola okumalawo ebizibu ebiyinza okukivaamu.

Atwine era yategeezezza nti abantu bangi ng’oggyeeko obutayagala kusooka kwekebeza, waliwo abo abeekebeza wabula ne bagaana okumira eddagala mu butuufu bwalyo era wano anokoddeyo abalwadde abamu abamira eddagala nga liri wansi w’obujjanjabi bwe balina okufuna nga kino kimanyiddwa nga ‘’under dose’’ okukkakkana nga tebawonye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...