TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kyaligonza atiisizza okuwawabira omuserikale wa tulafiki ne munnamawulire abamulumiriza okubatulugunya

Kyaligonza atiisizza okuwawabira omuserikale wa tulafiki ne munnamawulire abamulumiriza okubatulugunya

By Muwanga Kakooza

Added 2nd April 2019

OMUBAKA wa Uganda e Burundi Maj. Gen. Matayo Kyaligonza yegaanyi eby’okukuba omuserikale wa tulafiki ne munnamawulire e Seeta ku lw’e Jinja n’atiisa okubawawabira mu kkooti ng’agamba nti bamwononera linnya.

Kyali 703x422

Kyaligonza

Mu Febuary wa 2019 , emikutu gya ‘social media’ gyasasaanirako ebifaananyi ebyalaga Kyaligonza ng’ali n’abakuumi be okwali; Peter Bushindiki ne John Okurut nga bakaayukira omuserikale wa tulafiki; Esther Namaganda eyali ku mirimu gye e Seeta ng’abanenya okumenya amateeka g’ebidduka.

Kyokka Kyaligonza yagambye nti avumirira abamusiiga enziro kuba yaliwo ne yeerabira ku Namaganda gwe yayogeddeko ng’atalina mpisa eyakwata abajaasi abamukuuma ebitogi.

’’Alina okumenyawo bye yayogera oba ssi ekyo tusisinkane mu kkooti. Alina okukakasa nti yatulugunyizibwa,’’ Kyaligonza bwe yagambye.

Yabadde ayogera eri bannamawulire ku woteeri ya Emin Pasha  mu Kampala. Era n’agamba nti alagidde bannamateeka be baloope Namaganda ne munnamawulire Peter Otai. Munnamawulire yali agezaako okukwata ebifaananyi by’ebyali bigenda maaso.

Otai, agamba nti naye yawaabira Kyaligonza ng’ayagala obukadde 500 olw’okutulugunyizibwa ng’ali ku mulimu gwe. Kyokka bannamateeka ba Kyaligonza nabo bawandiikidde Otai nga bamugamba asasule akawumbi kamu n’obukadde 300 olw’okwogera kalebule ku muntu waabwe.

Otai yagambye nti tajja kutiisibwatisibwa Kyaligonza.

Ye Namaganda yagambye nti talina ky'ayogera kuba omusango gukyabuulirizibwako.

Kyaligonza yagambye nti ye munnamagye mutendeke era yabadde alinze abamuwalampa boogere bye baagala bibaggweeko.

Yagambye nti Pulezidenti yamubuuza bye bamuwandiikako mu mawulire naye (Kyaligonza) n’amunnyonnyola.

Kyaligonza yagambye nti ababaka bye baagamba Pulezidenti Museveni amugobe  ku bwa ambasada e Burundi ‘’bya kisiru’’ ne yeewunya lwaki  sipiika teyabalung’amya nga batuuka kw'ebyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasirye3 220x290

Kasirye Ggwanga aweze okulwanyisa...

MUNNAMAGYE Maj. Gen. Kasirye Ggwanga alangiridde ng’obwanga bw’abwolekezza e Butambala alwanyise abanene abasaanyaawo...

Jajja2 220x290

Jjajja afutizza omusomesa eyakubye...

JJAJJA alumbye essomero n’akuba omusomesa eyakubye muzzukulu we n’amutuusaako obuvune.

Nrm6 220x290

Abavubuka e Kibuye bawaanye Museveni...

OMUVUBUKA eyeeyita Omubanda wa Kaguta e Kibuye asiibye ne banne nga bayoyoota ekifo kyonna awali ofiisi yaabwe....

Soma1 220x290

Elwelu, aduumira amagye g'oku ttaka...

ADUUMIRA amagye ga UPDF ag’okuttaka, Maj. Gen. Peter Elwelu alumbye bannakisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power...

Omwanaasobolaokulimilamumipiiraemikaddewebuse 220x290

Muyigirize abayizi ebyobulimi n’obulunzi...

Abazadde muyigirize abaana okulima n'okulunda n'abasomesa bongereze okwo