TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka e Makindye balumirizza poliisi okubamenyera densite

Abavubuka e Makindye balumirizza poliisi okubamenyera densite

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2019

Abavubuka mu Divisoni ya Makindye balaajanidde meeya ku bapoliisi abaagala okubasubya okulonda nga bamenya densite zaabwe.

Sam1641webuse 703x422

Densite ya Byaruhanga gy'agamba nti yamenyebwa bapoliisi

Bya Jaliat Namuwaya

ABAVUBUKA b’omu divisoni y’e Makindye baloopedde abakulembeze baabwe ng’abaserikale ba poliisi gye bayitiridde okubatulugunya.

Bano balumiriza abaserikale okubeera nga kati baatandika n’omuze ogw’okumenya mu densite zaabwe nga kw’otadde n’okuziwamba naddala bwe babasanga mu biseera eby’ekiro nga badda eka.

Okwogera bino basinzide mu lukung’aana olwayitiddwa amyuka meeya w’ekitundu, Bosco Lugasera nga lwagendereddwaamu okuwulira ebiruma abavubuka okusobola okutema empenda ku ngeri gye bayinza okuyambibwamu naddala okweggya mu bwavu.

 bamuku bavubuka abaabadde mulukungaana nomumyuka wa eeya wa akindye ugosera Abamuku bavubuka abaabadde mu lukung'aana n'omumyuka wa Meeya wa Makindye Lugasera

 

Muzamiru Byaruhanga, y’omu ku bavubuka abeekokkola ebikolwa bya poliisi, ono yalaze endagamuntu ye eyamenyebwa n’agamba nti, “Bwe nali ntambula ekiro nasisinkana abapoliisi ne bambuuza gye nali ndaga ne mbategeeza nti nnali ng’enda waka ne bansaba ebinjogerako ne mbalaga densite. Eky’ennaku baaginzigyako ne bagimenyamu ne bagikasuka mu mwala ne batandikirawo okunkuba,” Byaruhanga bwe yannyonnyodde.

N’abavubuka abalala nabo baalumirizza poliisi ku nsonga y’okumenya mu densite zaabwe kye balowooza nti kikolwa ekigendereddwaamu okubalemesa okwetaba mu kulonda mu kalulu ka 2021.

“Omuserikale bw’akusanga n’akusaba densite n’ogimuwa agimenyamu, era n’akutegeeza nga densite gy’ategeeza bwe zibeera ssente,” abavubuka bwe baagambye.

Meeya Lugasera yavumiridde ekikolwa kya poliisi eky’okumenya mu densite z’abavubuka era n’abagumya nti waakwongera okulondoola ensonga eno okuzuula ekituufu.

 bamu ku bavubuka nga balaga densite zaabwe Abamu ku bavubuka nga balaga densite zaabwe

 

Wabula mu kwogera n’omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango yategeezezza nti tebannafuna lipooti eno era b’ofiisa baabwe baatendekebwa bulungi ku nsonga z’okukuuma ebintu bya gavumenti nga ne densite kimu ku byo.

“Bwe wabaawo omuserikale yenna amenye densite yo, totya wabula genda ku poliisi ekuli okumpi oggulewo omusango ffe tujja kumunoonya tumuvunaane,” Onyango bwe yagambye.

Mu lukung’aana luno abavubuka baalangide abakulembeze baabwe olw’okubajjukiranga mu biseera by’okulonda byokka olw’okulonda bwe kugwa ne babeerabira, bwebatyo baalajanidde Gavumenti nabo balowoozebweko ku ky’okuweebwa ssente z’abavubuka basobole okweggya mu bwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi