TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Jordan ne Saudi Arabia banaasimira ab’e Lwengo enzizi

Ab’e Jordan ne Saudi Arabia banaasimira ab’e Lwengo enzizi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2019

Sheikh Mugumya ategeezezza nti yadde nga disitulikiti ekyalina ebizibu bingi ebigiruma naye yatunuulidde eggombolola y'e Ndagwe ng’akyali mabega nnyo naddala mu byenjigiriza kw’ossa n'ekyeya ekibakosa kwe kusalawo akwatagane ne ssentebe Kateebe ng'obuyambi buno bwakuweebwa eggombolola y'e Ndagwe awatali kwekkiriranya.

Dr 703x422

Dr.Muhammed Abu Muswat (ku ddyo), Sheikh Abudurahuman Alghamid (wakati) ne Sheikh Yusuf Asabi abadduukiridde Bannalwengo.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

ABAZIRAKISA okuva mu ggwanga lya Jordan ne Saudi Arabia badduukiridde disitulikiti y'e Lwengo bwe babawadde enzizi nnya, essomero n'omuzikiti nga byakuwemmenta obukadde obusoba mu 700.

Ebintu bino byabasakiddwa omukwanaganya w'Abasiraamu mu Lwengo, Sheikh Alfat Adam Mugumya ne ssentebe w'eggombolola y'e Ndagwe, Junius Kateebe okuva mu mikwano gyabwe okuli Dr. Muhammed Abumuswat akulira ekitongole kya Humanitarian International Solvage.

Sheikh Mugumya ategeezezza nti yadde nga disitulikiti ekyalina ebizibu bingi ebigiruma naye yatunuulidde eggombolola y'e Ndagwe ng’akyali mabega nnyo naddala mu byenjigiriza kw’ossa n'ekyeya ekibakosa kwe kusalawo akwatagane ne ssentebe Kateebe ng'obuyambi buno bwakuweebwa eggombolola y'e Ndagwe awatali kwekkiriranya.

Sheikh Mugumya asabye abantu okukwana emikwano egibazimba nga basobola okukulaakulanya ebitundu byabwe kiyambeko eggwanga okukulaakulana okusinga okwekkusa bokka.

Ssentebe Kateebe asiimye olw'omulanga gwabwe ogwanukuddwa naddala ku nsonga y'ebyenjigiriza ng'abazadde babadde bagufudde mugano okufumbiza abaana babwe nga bato nga beekwasa ekizibu ky'amasomero agali ewala bwatyo n’alabula abazadde abanaasangibwa nga baggye abaana babwe mu masomero nga bw’agenda okubasiba.

Bo abatuuze basiimye ssentebe wabwe Kateebe abasakidde obuyambi buno kuba babadde bubi n’ebbula ly'amazzi ng'ate eggombolola eno emanyiddwa nnyo nga bw’erimu abalunzi n'abalimi.

Dr. Muhammed Abumuswat ne banne abamukwasizaako okudduukirira Lwengo ategeezeza nti Mugumya yamutuukirira n’amutegeeza nga disitulikiti eno bw’erina ebizibu ebigiruma omuli amasomero, amazzi, n’ebirala n’asalawo asitukiremu asooke amalewo ekyo ekibaluma ng'emirimu gino gyakutandika wiiki ejja nga October 8, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki