TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde abajaasi okwewala ettamiiro n'obwenzi

Museveni alabudde abajaasi okwewala ettamiiro n'obwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th April 2019

PULEZIDENTI Museveni alabudde abajaasi be okwewala obwenzi, ettamiiro n’okunywa ennyo sigala ng’agamba nti bigenda kussa obulamu bwabwe mu katyabaga.

D3izpkpxcaaps 703x422

Museveni era agumizza abajaasi nti agenda kutereeza ebyenjigiriza n’ebyobulamu mu nkambi z’amagye abaana baabwe basobole okusoma obulungi n’okuba mu bulamu obweyagaza.

Yayongedde okusaba bakazi b’abajjaasi okuba abayiiya beetandikirewo emirimu egivaamu ensimbi mu kifo ky’okulowooza ku kubeerawo ku misaala gy’ababba baabwe.

Bino Museveni yabyogeredde ku kitebe ky’ekibinja kya’amagye ekya 4th Infantry Brigade e Gulu gye yasinzidde okukalatira abajaasi okumanya ekinyusi ky’okutandika kw’eggye lino kye yagambye nti kyekulungulula ku kulwanyisa busosoze mu mawanga  n’okulwanirira obumu bw’omwana w’Omufirika.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa amaka g’obwa Pulezidenti, Museveni yagambye nti ebikolebwa mu Uganda tebisobola kugulwa Bannayuganda bokka wabula birina n’okutundibwa ebweru.

Yagambye nti Uganda efulumya amata agaweza liita obuwumbi bubiri n’obukadde musanvu omwaka  kyokka ng’enywaako obukadde 800 zokka ng’endala akawumbi kamu n’obukadde 900 zirina kutundibwa bweru.

Yayongedde nti kasooli Uganda eria ttani obukadde butaano kyokka ng’eryako emu yokka.Kino kitegeeza ttani obukadde buna zirina kutundiba bweru.

‘’Tufulumya emipiira gya pikikpiki 10,000  buli lunaku,tukozesaako 3,000 ne wafikawo 7,000. Kiba kitwetaagisa okufuna akatale k’ebweru’’ Museveni bwe yagambye. Yawadde abakazi  b’abajaasi obukadde 100 babusse mu SACCO yabwe 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe