TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basabidde omwoyo gwa Ssebyala eyatandikawo bbaasi z'Abaganda

Basabidde omwoyo gwa Ssebyala eyatandikawo bbaasi z'Abaganda

By Lawrence Kitatta

Added 8th April 2019

Sebyala yali omu ku baatandikawo bbaasi z’Abaganda mu kifo awali Qualicel era oluvannyuma yatandika Fred Sebyala Transporters etambuza amafuta n’okugagabira kkampuni ya Vivo Energy mu ggwanga.

Luweero2 703x422

Mulindwa ng'assa ekimuli ku malaalo ga kitaabwe ku Lwomukaaga. Owookubiri ku ddyo ye mulabirizi Matovu.

Bajjukidde omwoyo gwa Fredrick Sebyala omu baatandika okulinnyisa omutindo gw’Ebyentambula mu ggwanga.

Omukolo guno gwabadde mu kkanisa ya St. Peters Church of Uganda e Kalasa mu Bulemeezi e Luweero ng’emikolo gy’okumusabira gyakulembeddwaamu omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, Bp. Jackson Matovu. Omusika  Edward Mulindwa ye yawomye omutwe mu mukolo guno n'aba famire y’omugenzi.

Sebyala yali omu ku baatandikawo bbaasi z’Abaganda mu kifo awali Qualicel era oluvannyuma yatandika Fred Sebyala Transporters etambuza amafuta n’okugagabira kkampuni ya Vivo Energy mu ggwanga.

Abaana be abaabadde bakulembeddwaamu Mulindwa baategeezezza nti kitaabwe yabalekera omukululo ogutali mwangu kusangulawo era bamwebaza nti yaleka abayigirizza okuba abakozi.

Yagambye nti kitaabwe yabalekera ennono y’obukozi, obuwulize eri abakulembeze okwewala amabanja n’okukuuma eby’obugagga bwe era babitutte bulungi mu maaso nga bakolera wamu.

Omulabirizi Matovu yeebazizza Mulindwa ne banne olw'okukwatagana kwe balina mu famire ate n'okutambuza eby'obugagga bya kitaabwe nga tebabitunze n'abasaba okugendera awo.

Omuvannyuma lw’okusabira omwoyo gw'omugenzi mu kkanisa e Kalasa bagenze ku biggya e Kabira we yaziikibwa emyaka ebiri egiyise ne baganzika ekimuli ku malaalo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...