TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro ayagala aba essuubiryo SACCO bannyonnyole ku nsimbi ezibulankanyizibwa

Katikkiro ayagala aba essuubiryo SACCO bannyonnyole ku nsimbi ezibulankanyizibwa

By Dickson Kulumba

Added 8th April 2019

Katikkiro ayagala aba essuubiryo SACCO bannyonnyole ku nsimbi ezibulankanyizibwa

Kat2 703x422

Katikkiro ng'ali n'aba Essuubi Sacco

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga awadde bboodi ekulira essuubiryo Zambogo Sacco ebiragiro okukangavula abakozi abadda ku nsimbi za bammemba nebalya nagamba nti Buganda tesobola kutuuka ku kirooto kyakufuna bbanka nga tewali bweruufu.

Bino yabyogedde ku Lwomukaaga April 6, 2019 bweyabadde mu Ttabamiruka wa Sacco y’Obwakabaka eno nagamba obwegassi obw’ekikula kino bwebugenda okuddamu okuwa abantu ba Buganda amaanyi mu by’ensimbi n’okweggyamu okwetya naakubiriza abantu bonna bagyeyunire.

“Bboodi n’abaddukanya Sacco eno ekikulu mu nsonga eno kunyweza bweruufu. Abakozi bwebakwata obubi ensimbi zaffe mubagalire, temudda ku byatunoonyereza kubanga abantu bafisa ensimbi zaabwe nebazitereka n’okuzisiga n’ebigendererwa,” Mayiga bweyawadde amagezi aganatwala Sacco eno mu maaso.

Katikkiro yayongedde nalagira bboodi okulondoola nnyo abo abewoola ssente za Sacco kyokka nebagaana okuzisasula nabo nagamba nti banyolebwe emikono wabula yawadde abewoola amagezi okukozesa ssente ekyo kyebewoledde, lwebasobola okufuna embavu ezisasula.

“Okutandika bbanka, olina okusooka noteeka mu bbanka enkulu obuwumbi 35 mu bbanka enkulu. Sacco yaffe eno erina akawumbi kamu, nsaba bboodi etubulire mu bbanga lwetusobola okufuna bbanka ya Buganda. Nga bwebakyakola ekyo mugira mulowooza ne ku linnya lyenatuumibwa,” Mayiga bweyagaseeko.

Ekitavu kino kyatandikibwa mu 2011 era Kabaka nakitongoza mu 2015, nasiima Omulangira Kiweewa Jjunju okubeera omuyima waakyo. Mu kiseera kino kirina bammemba  3876 n’obugagga obuweza akawumbi kamu n’obukadde 100 okusinzira ku bibalo ebyakomekerezeddwa December 31,2018.

Dennis Kaggwa nga ye Ssentebe w’olukiiko olufuga ekitavu kino yategezezza nga bwebagenda okutandikirawo ku kusomoozebwa okubawereddwa Katikkiro okwongera ku muwendo gwa bammemba ate n’okukunga bammemba okwongera ku nsimbi zebatereka.

Minisita w’abavubuka n’emizannyo Henry Ssekabembe Kiberu nga yatwala ekitongole kino yasabye bammemba nti bakola emirimu gyaabwe, balowooze ku kukuuma ekitiibwa ky’Obwakabaka kubanga Sacco eno yatongozebwa Kabaka n’olwekyo erina okukola emirimu mu bweruufu obw’ekika ekyawaggulu.

Bammemba bayisiza ebiteeso ebiwerako ebyasomeddwa Joseph Balikuddembe nga kwabaddeko okukkiriza okugabana ensimbi z’amagoba eziva mu migabo gyaabwe wabula ziteekebwe ku akawunti zaabwe mu kibiina kino, Sacco okugulayo emmotoka endala etambuze emirimu n’ebirala.

Abantu ab’enjawulo bawereddwa ebirabo okwabadde Joseph Ssempala eyasinze okugula emigabo emingi mu 2018, Benson Bwete eyasinze okutereka ensimbi, George William Ssembalirwa ow’e Ssese eyasinze okutambuza obulungi ebbanja lye. Abalala abafunye kwabaddeko Vicent Ssegawa ne Kiyingi Bbosa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana