TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Ssente zitabudde Bannayuganda ababeera e Sausi ne beerangira ebisongovu

Ssente zitabudde Bannayuganda ababeera e Sausi ne beerangira ebisongovu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th April 2019

Bannayuganda babiri ababeera e South Africa baawukanye lwa ssente omu ze yawa munne nga basuubira okukola bizinensi emu kyokka munne n’adduka nazo.

Shakibb 703x422

Shakib (ku kkono) ne Sharif ssente be zitabudde

Omuvubuka amanyiddwa nga Sharif (24) agamba nti yawa munne Cham Shakib Lutaaya obukadde 60 eza Uganda nga zino baali bateesezza okukolamu bizinensi.

Agamba nti okusinziira kumyaka  8 gye bali bamaze nga baamukwano era nga bakolagana yamwesiga nnyo era okumuwa ssente tebakiteeka bumuwandiike.

Nga wayiseewo wiiki bbiri, Shakib yaggyako essimu ye nasenguka gye baali babeera n’adduka. Wabula ekyamala Sharif enviiri kumutwe, kwe kulaba ebifaananyi by’emmotoka empya ekika kya BMW ku mukutu gwa Shakib ogwa Facebook ng’ataddeko obubaka obwewaana nti yayingizzaawo ekyuma ekipya.

“Wiiki nga ssatu emabega, nnamuwa ssente eziwera obukadde 60 ze twali tukkaanyaako okukolamu bizinensi kyokka n’adduka nazo kati ansindikira abantu abantiisatiisa n’okunvuma ku sente ezange. Shakib mulyazamanya naye nga ku myaka munaana gye tumaze nga tukolagana lwaki ankola ekintu nga kino?”, bw'atyo Sharif bw’agamba.

Ebyo nga biri awo, waliwo ebigambibwa nti abamu ku Bannayuganda abeeyita abasama e Sausi tebalina mirimu gitegeerekeka ndowooza engeri gye batandise okwebba, bajja kwogera ne byama byabwe.

Wabula ye Shakib agamba nti tatwalangako ssente za Sharif , alabika amunoonyamu bibye.

“Oyo simumanyi ayagala kunkolelako amawulile ate nessente ezo sizimanyi, simusindirangako bantu bamuvume. Wabula kyemmanyi nti nze eyamwaniriza e Sausi n’ekirala ssente ezo z’agamba nnyingi nnyo teri muntu asobola kuziwa munne nga teri kiwandiko kyonna,” Shakib bw’agamba.

Ayongerako nti Sharif ayagala kumwonoonera linnya ng’entabwe yava dda ng’abakyabeera wamu ekirowozesa Shakib nti Shafik alina ennugu kyokka ate ye yamuyamba.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja