TOP

Engeri Kitatta gyeyasimattuse obutwa mu kkomera

By Joseph Makumbi

Added 10th April 2019

Engeri Kitatta gyeyasimattuse obutwa mu kkomera

Kit2 703x422

Kitatta lwe yaleetebwa mu kkooti y’amagye gye buvuddeko.

ABAKULU mu kkomera ly’amagye e Makindye nga bayambibwako poliisi bakyanoonyereza ku ngeri abantu abatannategeerekeka gye baali bapanze okuwa eyali omuyima wa Bodaboda 2010 Abudallah Kitatta, obutwa.

Omwezi oguwedde, abajaasi baakutte omukazi Fatuma Nassanga muka omu ku basibe e Makindye, Abdul Noor Ssemuju, eyakazibwako erya Minana nga kigambibwa nti yabadde atutte obutwa abuwe bba kyokka okusinziira ku byakazuulwa, obutwa baali bagenda kubuwa Kitatta.

Ensonda mu beebyokwerinda zaategeezezza nti, obutwa obwali buteekeddwa mu butunda obukamule, baali babutegese kubuwa Kitatta gwe baali baasibira mu kaduukulu kamu ne Ssemuju.

Obutwa, abajaasi baabukwatira ku ggeeti nga mutabani wa Ssemuju abututte n’emmere era abajaasi okuzuula nti waliwo ekikyamu, mutabani wa Minana yamala kugaana kulya ku mmere gye yali atutte n’obutunda n’agaana okubunywako. “Omukazi bulijjo ajja n’alaba bba nga balaga nti tebalina buzibu bwonna naye bwe yaleeta obutwa mu byokulya bya bba, buli muntu yatandika okwebuuza era twakizudde nti tebwali bwa bba, baali babuleetedde Kitatta,” ensonda bwe zaategeezezza. Nga March 25, 2019, ssentebe wa kkooti y’amagye Lt. Gen. Andrew Gutti yalagidde Kitatta atwalibwe e Luzira.

Ensonda zaategeezezza nti, Gutti okulagira Kitatta aggyibwe mu kkomera ly’amagye gye yali yalagira bamusibire oluvannyuma lw’okwekengera nti wandibaawo ekimutuusibwako mu kkomera e Luzira gye yali yasooka okusibirwa, baamaze kufuna kutya nti eyabadde asindise obutwa yandikozesa engeri endala n’amukola ekikyamuGutti yasoose kulagira Kitatta atwalibwe e Kigo wabula looya wa Kitatta, Shaban Sanywa ne Kitatta ne bagaana olw’ebyokwerinda by’ekkomera ebitamatiza kwe kulagira atwalibwe e Luzira.

LOOYA WA KITATTA ANNYONNYODDE

Shaban Sanywa looya wa Kitatta yagambye nti, Ssemuju yali mukwano nnyo gwa Kitatta ne mukyala we n’akola omukwano ku muka Kitatta famire ne zifuuka za mikwano.

Yagasseeko nti, olukwe lwonna baali baluyisizza mu muka Ssemuju, Kitatta bamuwe obutwa afiire mu kkomera. Amagye bwe gaamukwata, bbo baakiraba ng’eyali ayagala okutta bba naye ng’olukwe lwonna baali balupangidde Haji.

Era emmere Ssemuju yali agenda kugiwa Kitatta. “Nze abaamagye bahhamba nti, omwami ono abadde afunidde eno obuzibu katumukyuse tumutwale e Luzira. Baali bahhambye nti nze mba nkisaba ne hhaana ne mbagamba nti be baba bakikola era twagenda okutuuka mu kkooti nga baakiteesezzaako dda,” Sanywa bwe yategeezezza.

Yagambye nti, yagaana okusaba Kitatta okutwalibwa e Luzira kubanga yali yakisaba dda ne bagaana n’akibalekera bakyekolereko era be baasalawo nti atwalibwe e Luzira.

Yagambye nti, omukyala baamukwata ne bamutwala mu kkooti ne bamuwa akakalu. Ssemuju olukwe yalulimu naye bbo abeebyokwerinda baakitwala nti omukyala yali ayagala kutta bba“Omusango twagala kulaba bwe tufuna ebiragiro okuva ewa Haji.

Omusango tubeere nga tugugoberera bwe gutambula, “ Sanywa bwe yagasseeko. Kitatta okuva lwe yatwalibwa mu kkooti y’amagye, azze akyogera lunye nti waliwo abantu abamulimirira abamusibako emisango gy’atazza era yategeeza nti, emisango gyonna egyamuggulwako, talina gw’amanyiiko.

Yategeeza kkooti nti, emmundu ebbiri ze baasanga mu mmotoka ye, zaali za mukuumi we Ngobi Sowali omuserikale wa poliisi eyamuweebwa okumukuuma. Era yategeeza kkooti nti, emmundu eya zaabu gye bagamba nti baamukwata nayo mu kasenge ka Vine Tea Hotel e Wakaliga, byali bipange.

Akalambira nti, takwatanga ku mmundu wadde nga bwe yagenda mu bbanguliro ly’ebyobufuzi e Kyankwanzi baamuyigiriza bwe bagikuba. Kiteeberezebwa nti, abantu Kitatta b’azze ayogerako nti be baamusibako emisango egyamutwaza mu kkooti y’amagye, be baali baagala okumuwa obutwa.

POLIISI EYOGEDDE Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Nassanga baamutwala mu kkooti e Makindye ne bamusomera omusango gw’okugezaako okutta omuntu nti kyokka okunoonyereza kukyagenda mu maaso okuzuula ekigendererwa ky’okutwalira bba obutwa mu kkomera ly’amagye. Minana y’omu ku bavunaanibwa ne Nixon Agasirwe ku misango gy’okuwamba Vicent Kaliisa munnansi wa Rwanda nga October 23, 2013 e Lukole Bombo mu Luweero ne bamuzza e Rwanda nga tebalina lukusa. Baakozesa bbomu n’emmundu ekika kya Pisito.

Kitatta yakwatibwa January 20, 2018 okuva ku Vine Tea Hotel e Wakaliga nga kigambibwa nti yalina emmundu mu bumenyi bw’amateeka. Yakwatibwa n basajja be abalala 12 okuli; Matia Ssenfuka, Joel Kibirige, Hassan Ssemata, Jonathan Kayondo, Ssengooba, Hassan, Sande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika, Amon Twinomujuni ne Sowali Ngobi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...