TOP

Tayiro za pulasitiika ze ziriko kati

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

Omuntu yenna azimba abera aba ayagala akole ekintu ekirabika obulungi era nga kinawangaala ate nga tekiseerebwa.

Kezi2 703x422

Bya Stella Naigino

Omuntu yenna azimba abera aba ayagala akole ekintu ekirabika obulungi era nga kinaawangaala ate nga tekiseerebwa.

Okukozesa tayiro mu nnyumba yo kigirabisa bulungi nnyo kyokka okulonda tayiro esinga okunyiriza n'okuggyayo ekifaananyi ky'ennyumba yo nagwo mulimu mulala

Abakugu bagamba nti tayiro eya pulasitika ng'ekoleddwa n'egattibwamu amayinja nnungi era erabisa bulungi ennyumba yo.

Brain Musinguzi omu kw'abo abagikozesa agamba nti teyejjusa kussa ze mu tayiro eza pulasitiika.

Agamba nti yadde endabiika yaayo eringa tayiro endala, eno yo omuntu bw'agisiba mu nnyumba, teyetaaga kugula simenti oba 'gulawuti' kuba zo zikolebwa nga bazisiba bagatta ngatte.

 bavubuka nga balaga tayiro za pulasitiika engeri gye zikozesebwamu Abavubuka nga balaga tayiro za pulasitiika engeri gye zikozesebwamu

 

Musinguzi agamba nti agenda okusiba tayiro ezeekikula kino, yeetaaga okusooka okuyiwa wansi enkokoto yokka olwo n'alyoka azaalirirako. Kitegeeza nti omuntu ono ne bw'aba mupangisa wonna waayagalidde okusenguka asobola okusumululawo tayiro ze n'agenda nazo.

Endabiirira ya tayiro zino

Abakugu bagamba nti nga tayiro endala zonna, n'eno eya pulasitiika, esiimuulwa era ng'omuntu bw'asimula ennyumba ye. Teserela era nga tebuguma or okunnyogoga nga tayiro ziri endala.

Akozesa tayiro eno teyeetaaga kugissa wabweru kuba esobola okwononekera yo. Eno tayiro erina kutekebwa munda mu nnyumba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...